Abawala 4 balwanira ngatto ya muteebi

Opa Clement Tukumbuke (Tanzania), Sandrine Niyonkuru (Burundi), Loza Abera Gienore (Ethiopia) ne Fazila Ikwaput (Uganda) balwanira engatto ya muteebi mu CECAFA w'abakazi.

Ikwaput owa Uganda
By Ismail Mulangwa
Journalists @New Vision
#Ikwaput #crested cranes #CECAFA

ABAZANNYI bana okuva mu nsi ez’enjawulo okuli; Tanzania, Uganda, Ethiopia ne Burundi balwanira engatto y'omuteebi asinze okulengera obutimba mu mpaka za CECAFA Women Championship eziyindira e Jinja ku kisaawe kya Njeru Technical Center.

Opa Clement Tukumbuke (Tanzania), Sandrine Niyonkuru (Burundi), Loza Abera Gienore (Ethiopia) ne Fazila Ikwaput (Uganda) be balwanira engatto y'omuteebi.

Tukumbuke alina ggoolo 6, Niyonkuru 5, Loza 5 ne Ikwaput 5 nga bano omupiira ogusemba gwe gubeeyimirira ku Lwomukaaga.

Ethiopia ettunka ne Tanzania nga balwanira anaakwata ekifo ekyokusatu era Loza alina emikisa mingi okuteeba kuba ne mu kibinja bwe basisinkana yabateeba.

Opa Clement Tukumbuke (Tanzania)

Opa Clement Tukumbuke (Tanzania)

Niyonkuru ne Ikwaput baakuttunka ku fayinolo era Ikwaput yategeezezza nti engatto ze zisagala ku butaka kuba agenda kukola kyonna ekyetaagisa okulaba ng'akuba Burundi awabi.

Empaka za CECAFA Women Championship zikomekkerezebwa ku Lwamukaaga n'oluvannyuma ttiimu y'eggwanga eya Crested Cranes yeetegekere empaka za AWCON ezigenda okubeera e Morocco omwezi ogujja.