Wasswa Bbosa asokodde Express

Gaddafi eyakansa Wasswa Bbosa mu April ng’omutendesi waabwe omugya  baamuwadde obuyinza okwerondera ttiimu gy’anakolanayo sizoni ejja era ono yasoose kuddukira mu Express n'agisokola. 

Bbosa
By Ismail Mulangwa
Journalists @New Vision
#bbosa #UPL #Express #Gaddafi FC

OLUVANNYUMA lwa Gaddafi FC okusigala mu liigi yababinywera eya Startimes Uganda Premier League, ereese Geroge William Lutalo omutendesi wa ttiimu y’abakazi eyetegekera AWCON ne Sam Kawalya okuva mu Express okuyambako Wasswa Bbosa omutendesi waabwe omugya sizoni ejja. 

George Lutalo

George Lutalo

Gaddafi eyakansa Wasswa Bbosa mu April ng’omutendesi waabwe omugya nga baamuwadde obuyinza okwerondera ttiimu gy’anakolanayo sizoni ejja. 

Wasswa, yalonze Lutalo eyayabulira Onduparaka wakati mu sizoni ewedde ng’omumyuka we nga kw’otadde ne Kawalya abadde amyuka James Odoch mu Express. 

Kawalya

Kawalya

Kawalya ne Bbosa bakozeko bombi mu Tooro United ne Express FC. Ayub Balyejusa akwasaganya fitiness y’abazannyi naye wakwegatta ku Bbosa nga n’ono baali bombi nga bawangulira Express liigi mu sizoni ya 2020/21. 

Ayub Blyejjusa

Ayub Blyejjusa

Gaddafi FC yamalira mu ky’amunaana sizoni ewedde n’obubonero 37.