Najjemba ayongedde ebbugumu mu nkambi ya Crested Cranes

Najjemba eyatonnye mu ggwanga eggulo (Mmande) n’ateeka akaseko ku matama g’omutendesi wa crested Cranes. 

Najjemba mu kutendekebwa
By Ismail Mulangwa
Journalists @New Vision
#Crested Cranes #AWCON #Najjemba #FUFA

EBBUGUMU lyeyongedde mu nkambi ya Crested Cranes abetegekera empaka za AFCON w’abakazi ez’okubeerawo omwezi ogujja, Fauzia Najjembe bw’abeegasseko e Kisaasi. 

Fauzia Najjemba

Fauzia Najjemba

Najjemba eyatonnye mu ggwanga eggulo (Mmande) n’ateeka akaseko ku matama g’omutendesi.  Najjemba, azannyira mu BIIK Kazygurt eya Kazakhstan era asuubirwa nti ffoomu gy’aleese egenda kugatta ku Crested Cranes nga batuuse mu mpaka za AWCON ezigenda okubeera e Morocco omwezi ogujja. 

Uganda yamezze Birundi okusitukira mu kikopo kya CECAFA ekyawadde abazannyi amanyi saako n’obuvumu nga bagenda mu AWCON. 

Lutalo

Lutalo

George William Lutalo omutendesi wa ttiimu eno yagambye nti obwanga babuzizza ku kikopo kino kuba abazannyi bali mu mbeera nnungi ate enkambi eri mu ssanyu. 

 

“AWON wa njawulo nnyo ne CECAFA era tuli betegefu okweganga buli ttiimu,” Lutalo bwe yategezezza. 

 

Uganda eri mu kibinja A omuli, abategesi aba Morocco, Burkina Faso ne Senegal.