Nalukenge ali ku muyiggo gwa ttiimu ndala

Nalukenge ye yawangula kapyata ya Airtel mu 2019 nga omuzannyi omuwala eyasinga banne okwolesa omutindo.

Nalukenge n'omudaali Crested Cranes gwe yawangudde mu CECAFA.
By Ismail Mulangwa
Journalists @New Vision
#Juliet Nalukenge #AWCON #Sweden #Cyprus Apollon Ladies

OMUTEEBI wa ttiimu y’eggwanga ey’abakazi, Juliet Nalukenge ayolekedde okwegatta ku ttiimu empya e Bulaaya. 

Nalukenge agenda okusubwa empaka za AWCON, asuubirwa okwegatta ku ttiimu y’e Sweden ezannyira mu liigi ya babinwera. 

Nalukenge (ku ddyo) ng'attunka ne Asha Jafari owa Burundi mu CECAFA.

Nalukenge (ku ddyo) ng'attunka ne Asha Jafari owa Burundi mu CECAFA.

Ono abadde azannyira mu Cyprus Apollon Ladies bannantameggwa ba sizoni ewedde wabula ng’okwegatta ku ttiimu eno yali ava mu Kawempe Muslim. 

Nalukenge eyawangula kapyata ya Airtel mu 2019 ng’omuzannyi asinga, sizoni ewedde abadde ku bbanja mu kiraabu ya AMOK Chrysomilia gye yayolesezza omutindo omulungi n’atuuka n’okuyaayaanirwa ttiimu ze Bulaaya. 

Ono ali mu kwogerezebwa ne ttiimu z’e Girimaani, Austria ne Norway.