Aba Crested Cranes bakebereddwa ebiragalalagala

Ekibinja ky’abazannyi 15 be baakebereddwa ebiragalalagala nga eteeka lya CAF bwerigamba.  Bano bakebereddwa mu bibinja bibiri ng’ekisooka kyakebereddwa ggulo.

Lutalo ng'ayogera n'abazannyi
By Ismail Mulangwa
Journalists @New Vision
#Crested Cranes #AWCON #FUFA

MU kawefube w’okwetegekera empaka za Afrika, abazannyi ba ttiimu y’eggwanga ey’omupiira gw’abakazi (Crested Cranes) babukezezza nkokola mu ddwaaliro okwekebejjebwa nga tebannayolekera Morocco empaka gye zigenda okubeera nga July 2-23. 

Ekibinja ky’abazannyi 15 be baakebereddwa ebiragalalagala nga eteeka lya CAF bwerigamba.  Bano bakebereddwa mu bibinja bibiri ng’ekisooka kyakebereddwa ggulo.

Nga bavudde mu ddwaaliro, baatukidde mu kutendekebwa era bangi obwedda bawejja wejja olw’obukodyo n’emisinde omutendesi George Lutalo mwe yabyisizza. 

Abazannyi mu kutendekebwa

Abazannyi mu kutendekebwa

Lutalo agamba nti tebalina budde bwakwonoona kuba baagala abazannyi abali fiiti bateekewo okuvuganya okw’enjawulo mu za AWCON. 

“Abazannyi naddala bapulo n’abo abazannye CECAFA tulina okubakamulamu obukoowu bwe babadde nabo,” Lutalo bwe yategezezza. 

Ku bapulo abatendekeddwa kuliko; Fauzia Najjemba, Sandra Nabweteme ne Yudaya Nakayenza.