Nalukenge asaliddwako

Ttiimu esuubirwa okusitula enkya (Lwakubiri) okwolekera Morocco gy’egenda okuzannyiramu ogwomukwano ne Phoenix WFC ku Lwomukaaga June 25, 2022.

Juliet Nalukenge (ku ddyo) ng'attunka n'owa South Africa
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision
#Juliet Nalukenge #AWCON #Crested Cranes

OMUTEEBI Juliet Nalukenge yeewunyisizza abawagizi ba Crested Cranes (ttiimu y’eggwanga ey’omupiira gw’abakazi) bw’akulembedde olukalala lw’abazannyi musanvu omutendesi George William Lutalo b’asudde nga ttiimu egenda mu za Afrika.

Ku wiikendi Lutalo yaszzeeko abazannyi okuli; Nalukenge (Chrysomolia FC eya Cyprus), Shadia Nankya (UCU Lady Cardinals), Natasha Shiraz (Maccabi Kishronot Hadera eya Israel), Biira Nadunga, Grace Aluka (Olila High School) ggoolokippa Hadijah Nalongo ne Samalie Nakachwa.

Lutalo ng'awa abazannyi ba Crested Cranes notisi

Lutalo ng'awa abazannyi ba Crested Cranes notisi

Bano beegasse ku; Viola Namuddu (Makerere University), Harima Kanyago (Uganda Martyrs), Miriam Ibunyu (She Corporate), Naome Nagadya (She Corporate), Resty Nanziri (Kampala Queens), Juliet Adeke (Kawempe Muslem), Gloria Namakula (FC Tooro Queens), Harima Kanyago (Uganda Martyrs WFC), Salena Allibhai (KAA Gent, Belgium), Adrine Birungi (Gaspo FC, Kenya), Phoebe Banura (UCU Lady Cardinals FC, Uganda), Jolly Kobusinge (FC Tooro Queens), Resty Kobusobozi (FC Tooro Queens, Uganda), Rhoda Nanziri (Kawempe Muslim Ladies, Uganda), Elizabeth Nakigozi (Uganda Martyrs WFC, Uganda), Sharon Nadunga (Kawempe Muslim Ladies FC, Uganda), Favor Nambatya (She Corporate FC, Uganda), Susan Atim (She Corporate FC, Uganda), Grace Aluka (Olila High School, Uganda), Zaina Namuleme (Kampala Queens FC, Uganda) abaasalwako mu kusooka.

Mu ngeri y’emu, ttiimu yeyongeddemu amaanyi oluvannyuma lwa ggoolokippa era kapiteeni Ruth Aturo azannyira mu Katkan Tyovaen Palloillijat eya Finland okuyingirawo.

Crested Cranes yeetegekera mpaka za Africa (eza 2022 Africa Women Cup of Nations) oz’okubeerawo wakati wa July 2-23, 2022 mu kibuga Rabat ekya Morocco. Uganda eri mu kibinja A ne Burkinafaso, Senegal ne Morocco (abategesi).

Ttiimu esuubirwa okusitula enkya (Lwakubiri) okwolekera Morocco gy’egenda okuzannyiramu ogwomukwano ne Phoenix WFC ku Lwomukaaga June 25, 2022.