Bapulo 4 beegasse ku Crested Cranes

Enkambi y'abakazi abeetegekera eza Afrika yeeyongedde ebbugumu

Fauzia Najjemba (owookusatu okuva ku kkono), ne banne mu nkambi.
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision
#Crested Cranes #Uganda #Africa #2022 Africa Women Cup of Nations

2022 Africa Women Cup of Nations

EBBUGUMU ly'eyongedde mu nkambi ya Crested Cranes (ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ey’abakazi), bapulo bana  bwe beegasse mu nkambi nga beetegekera empaka za Afrika (2022 Africa Women Cup of Nations).

Ggoolokipa Vanessa Edith Karungi (Boldklubben AF 1893 eya Denmark), Tracy Jones Akiror (AFC Ann Arbor, USA), Fauzia Najjemba (BIIK Shymkent eya Kazakhstan) ne Yudaya Nakayenze (Lindey Wilson College eya Amerika), be beegasse ku ttiimu.

Bano beegasse ku bapulo abalala ababaddewo nga Crested Cranes ewangula ekya CECAFA okuli; Juliet Nalukenge (Chrysomolia FC eya Cyprus), Shirazi Natasha (Maccabi Kishronot Hadera eya Israel), Salena Allibhai (KAA Gent eya Belgium), Joan Nabirye (Vihiga Queens - Kenya), Sheebah Zalwango (FC Amani eya DR Congo) ne Sandra Nabweteme (atalina ttiimu mu Amerika).

Ku bapulo 15 omutendesi George William Lutalo be yayita ku ntandikwa ya May,  wasigaddeyo basatu okuli; Viola Nambi (FC Dornbirn Ladies eya Austria),  Adrine Birungi ne Christine Madam (aba Gaspo FC eya Kenya) ssaako Rita Kivumbi (Mallbackens IF eya Sweden).

Eza Afrika zizannyibwa wakati wa July 2-23, 2022, mu kibuga Rabat ekya Morocco, ng'amawanga 16 ge gagenda okuzeetabamu. 

Uganda, eyeetabamu omulundi ogwokubiri,  eri mu kibinja A omuli; Burkina Faso, Senegal ne Morocco abategesi