Uganda ewera kwesasuza Ethiopia

Abazannyi ba Crested Cranes, omuli Juliet Nalukenge, Margret Kunihira, Daphine Nyayenga abali mu ttiimu yabatasussa myaka 17 baagala kwesasuza Ethiopia okubalemesa okukiika mu World Cup eyalina okubeera mu Costa Rica omwaka guno.

Crested Cranes
By Ismail Mulangwa
Journalists @New Vision
#ethiopia #crested drane #cecafa

Ku Lwokuna mu CECAFA Women Championship 

Uganda Vs Ethiopia (7:00)

TTIIMU y'eggwanga ey'abakazi (Crested Cranes) akalulu kagisudde ku Ethiopia gye batalima nayo kambugu mu mpaka ez'omuzinzi.

Uganda ye yakulembedde ekibinja A n'obubonero 9 mu mipiira esatu so nga Ethiopia yakutte kyakubiri mu kibinja B n'obubonero 7 mu  mipiira 3.

George William Lutalo

George William Lutalo

Omutendesi George William Lutalo yagambye nti Ethiopia kigezo ky'amaanyi nnyo era bagenda kw'ongera ebirungo mu kutendekebwa okulaba nga ttiimu etuuka ku fayinolo.

Ethiopia

Ethiopia

"Ethiopia ttiimu nnungi era tugiwa ekitiibwa wabula naffe twagala kukomya jjoogo lyabwe kuba bazze batuwandula mu buli mpaka ez'omuzinzi." Lutalo bwe yategeezezza.