Owa Crested Cranes tatidde

"Ttiimu yonna anaakwata ekyokubiri ttiimu zitusingako okuzannya omupiira mu kaseera kano wabula naffe tetutidde kuba tubalazeeko obukambwe bwaffe." Lutalo bwe yategeezezza.

Asha Djafari (ku kkono) owa Burundi ng'attunka ne Juliet Nalukenge owa Uganda.
By Ismail Mulangwa
Journalists @New Vision
#Uganda #CECAFA #George Lutalo

GEORGE William Lutalo omutendesi wa ttiimu y'eggwanga ey’abakazi akuutidde abazannyi be obutakyamukirira oluvannyuma lw’okumegga Burundi 4-1 mu mupiira ogwabaddeko obugombe. 

 Lutalo yategeezezza nti omwaka guno teri ttiimu nyangu mu mpaka zino kuba ne Djibouti gye baali bakuba ggoolo ezimenya amateeka kati ebatuyanya n'akuutira abazannyi be okuzannya buli mupiira nga fayinolo.  

George William Lutalo

George William Lutalo

Uganda yavudde mu kibinja ng’ekulembedde n'obubonero 9, Burundi yakutte kyakubiri n'obubonero 6, Rwanda 3 ate Djibouti 0.  

 

"Tugenda kuzannya Ethiopia oba Tanzania yenna anaakwata ekyokubiri atusingako okuzannya omupiira mu kaseera kano wabula naffe tetutidde kuba tubalazeeko obukambwe bwaffe." Lutalo bwe yategeezezza.  

 

Uganda yakudda mu nsiike ku Lwokuna ng’ezannya semi okulaba ng’etuuka ku fayinolo.