Mourinho aswamye gwa Bayern

Mu kiseera kino Bayern eri mu kaseera kazibu oluvannyuma lw’okukubwa Leverkusen ggoolo 3-0 ku Lwomukaaga.

mourinho ng'anywegera ekikopo kya Europa conference League.
NewVision Reporter
@NewVision
#ManU #Real Madrid #Jose Mourinho #Bayern #Jan-Christian Dreesen #Europa Conference League

EYALIKO omutendesi wa Chelsea, ManU, Real Madrid ne ttiimu endala, Jose Mourinho atandise okuyiga Olugirimaani n’ekigendererwa ky’okutendeka Bayern Munich.

Mu kiseera kino Mourinho talina mulimu oluvannyuma lw’okumugoba mu Roma eya Yitale. Mu kiseera kino Bayern eri mu kaseera kazibu oluvannyuma lw’okukubwa Leverkusen ggoolo 3-0 ku Lwomukaaga.

Wadde ng’akulira emirimu mu Bayern, Jan-Christian Dreesen yagambye nti bakyakkiririza mu mutendesi waabwe, Thomas Tuchel, omukutu gw’amawulire ogwa Bild ogufulumira e Girimaani gugamba nti Mourinho essaawa yonna ayingirawo kuba Tuchel waliwo abakkiriza nti ttiimu emulemye.

Mourinho yawangulira Roma ekikopo kya Europa Conference League kyokka Roma n’emugoba nga bagamba nti enneeyisa teweesa kitiibwa nga buli kaseera agugulana ne baddiifiri ekimuleetera okufuna kaadi.

Bayern singa terinnyisa mutindo, yandiremwa okuwangula ekikopo kya liigi omulundi ogw’e 12 ogw’omuddiring’anwa.

Login to begin your journey to our premium content