Ebyemizannyo

Fide Master Bob Bibasa yeetisse empaka z'abasajja Memorial chess championship

Fide Master Bob Bibasa yeetisse empaka z'abasajja Memorial chess championship ezitegekebwa buli mwaka okujjukira eyali Nnakinku mu muzannyo guno William Zabasajja

Fide Master Bob Bibasa nga bamukwasa ekikopo
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

Abawanguzi 
Abasajja 
1. Bob Bibasa 6.5 
2. Innocent Tamale 6.5
3. Gong Thon Gong 6
Abakazi 
1. sana Omprakash Kayyar 7.5 points
2. Amoko Ivy Claire 6
3. Asaba Juliet 5.5
Abawala 
Anabel Kirabo
Abalenzi 
Trevor Tumukunde
Fide master Bob Bibasa yeetisse empaka z'abasajja Memorial chess championship ezitegekebwa buli mwaka okujjukira eyali Nnakinku mu muzannyo guno William Zabasajja. 
Empaka zino zimaze ennaku nnya nga zitojjera e Makindye era nga zaakomekkerezeddwa ku ssande.
Bibasa yenkanyizza obunero 6.5 ne Innocent Tamale oluvannyuma n'alangirirwa ku ngule y'eyomuzinzi esookedde ddala okuva mu 2016.  a

Omu kubawanguzi nga bamukwasa Certificate

Omu kubawanguzi nga bamukwasa Certificate


Abazanyi abasoba mu 100 beebetabye mu zomwaka guno omwabadde nabagwiira okuva south sudan ne comoros.
Sana kayyar Omprakash yeeyeetisse ezabakyala oluvannyuma lwokukuba suhana anil Yadav eyabadde asuubirwa okuwangula ezomwaka guno. 
Anabel Kirabo ne Trevor Tumukunde bebaawangudde mu zaabato mu mutendera gwabawala nabalenzi.

Empaka zino zitegekebwa buli mwaka okujjukira William zabasaija eyasooka okufuna ekitiibwa kya FIDE master mu Uganda. Ono yava mu bulamu bwensi eno mu 2006.
Omutendesi wa tiimu ya Uganda Harold Wanyama yatenderezza omugenzi olwomukululo gweyaleka ogumuyambye okukola obulungi mu mpaka eziri ku mutendera gwensi yonna.

Omu kubawanguzi ng'aweebwa ekikopo

Omu kubawanguzi ng'aweebwa ekikopo


Wanyama yeegatiddwako president wekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa chess mu ggwanga Emanuel Mwaka okusiima emirimu gyomugenzi mu kukulakulanya omuzannyo gwa chess mu ggwanga.
Empaka zino zaakozeseddwa okuteekateeka tiimu yabamusaayimuto abagenda okukukiikirira eggwanga mu mpaka zabavubuka ezigenda okubera e Zimbabwe ku ntandikwa yomwezi ogujja.
Abawanguzi baweereddwa ebirabo ebyenjawulo okwabadde satifikeeti, emidaali, ebikopo ne ssente enkalu
Tags: