Put Yeefukuludde

OMUTENDESI wa Cranes, Paul Put yeefukuludde n’ayita Khalid Aucho gwe yagambye nti akyalina ebimusumbuwa. Ku Lwokusatu Put yayungudde abazannyi 28 nga Aucho taliimu n’ategeeza nti kaiteeni wa ttiimu eno, akyatereeza bya kiraabu ye.

Khalid Aucho
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMUTENDESI wa Cranes, Paul Put yeefukuludde n’ayita Khalid Aucho gwe yagambye nti akyalina ebimusumbuwa. Ku Lwokusatu Put yayungudde abazannyi 28 nga Aucho taliimu n’ategeeza nti kaiteeni wa ttiimu eno, akyatereeza bya kiraabu ye.

Aucho yeegasse ku Singida Black  Stars (Tanzania) oluvannyuma lwa Young Africans (Tanzania) obutamuwa ndagaano mpya. Mu ngeri y’emu ne Steven Mukwala yayongeddwa ku ttiimu eno egenda okuzannya emipiira ebiri mu bbanga lya nnaku 5 mu gisunsula abalizannya World Cup y’e Mexico, Amerika ne Canada omwaka  ogujja. Beetegekera kuttunka ne Mozambique nga September 5 Lwakutaano) ezzeeko Somalira September (Mmande) nga gyombi gigenda kuyindira Namboole.
ANI KAPITEENI?
kampeyini za Cranes 2 eziyise, Aucho y’abadde kapiteeni wa Cranes kyokka okudda kwa Onyango kuleeta ebibuuzo. Onyango yawummula okuzannyira Cranes mu 2021,
obwakapiteeni ne buweebwa Emmanuel Okwi nga naye  oluvannyuma yawummula ne
buweebwa Aucho.Omukungu ku ttiimu eno yategeezezza nti Put y’alina obuyinza ku ani agenda okuduumira ttiimu era abaagala okumutegeera balinde okutendekebwa kutandike.
BAYINGIDDE ENKAMBI
Eggulo, omwogezi we FUFA, Ahmed Hussein yategeezezza nt bazannyi bonna 11 abaayitibwa mu liigi ya wano, baatusse dda mu nkambi ku FUFA Hotel e Kisaasi.
Yannyonnyodde nti bapulo okuli, Aucho, Mukwala, Jamal Salim, Kenneth Semakula ne
Anthony Uchechukwu Mubiru Ikpeazu baabadde basuubirwa eggulo. Cranes eri mu kibinja ekikulembeddwa Algeria ku bubonero (15), Mozambique (12),
Botswana ne Uganda (9 buli omu), Guinea 7 ne Somalira 1. Batwalako ttiimu emu okugenda mu World Cup.