EMISINDE gya Rotary Cancer Run omwaka guno gikoze likodi okukung’aanya ssente ennyingi okuva mu 2012. Emisinde gino gyabaddewo eggulo nga gyasimbuddwa ku kisaawe e Kololo okutolontoka kiromita 5, 10 ne 21 mu Kampala. Emisinde gino gyavuddemu obuwumbi 3 n’obukadde obusoba mu 500. Gy’etabiddwaamu abaddusi 600,00.
Munnalotale Emmanuel Katongole eyabadde omuddusi omukulu yategeezezza nti ssente zino zonna weeziri nga tekuli zaakusuubiza. Steven Mwanje eyagitandikawo mu 2012, yagambye nti omwaka guno gubaddemu ebibala nga gwatandika na pulezidenti wa Lotale mu nsi yonna, Stephanie Urchick n’agiteekamu doola 100 (eza Uganda 370,000/-. Emisinde gino gigendereddwaamu okusonda ssente okumaliriza ekizimbe ekiri mu ddwaaliro e Nsambya omugenda okusimbibwa ebyuma ebikalirira abalwadde ba kkookolo. Ssentebe w’akakiiko akategesi, Ritah Balaka yategeezezza nti kkookolo talina gw’ataliza, nga kyabuvunaanyizibwa okwetaba mum misinde gino okubaako ky’oyamba okutaasa obulamu. Gyawagiddwa kkampuni ya Vision Group efulumya Bukedde, USAID, Centenary Bank, Harris International, Kiraabu za Lotale mu ggwanga n’abalala.