Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa chess mu ggwanga ekya Uganda Chess Federation (UCF) kirangiridde teamu y'abamisaayimuto 17 okukiikirira eggwanga mu mpaka za Africa Youth Chess Championships ezigenda okubumbujjira mu kibuga Harare ekya Zimbabwe ku ntandikwa y'omwezi ogujja.
Team eno erimu abalenzi 10 n'abawala 7 nga ejudde abavubuka abazze bawangulira Uganda emidaali mu mizannyo egy'enjawulo okuli nnantameggwa wempaka za Uganda ezabavubuka Sana Kayyar Omprakash agenda okwetaba mu mutendera gwabali wansi wemyaka 18.

Omuzannyo gwa Chess
Gyebuvuddeko Sana abadde kyaggye awangulira Uganda omudaali gwa feeza mu mpaka za Africa ezabavubuka abali wansi wemyaka 20 ezaabadde mu ggwanga lya Cape Verde.
Ono waakwegattibwako Nnantameggwa wempaka za chess wamassomero ga Africa eza 2021 Edwin Pido nga ye waakuvuganya mu mpaka zabalenzi abali wansi wemyaka 18.
Abalala abasuubirwamu emidaali ye Juliet Asaba (U-14), Elvis Tumusiime (U-10), Ronald Wabwire (U-12) ne Suhana Anil Yadav (U-12) abaasembayo okuwangulira Uganda emidaali mu mpaka ezaabadde mu kibuga Mombasa ekya Kenya.
Abazanyi abalala kuliko Dasha Zalwango, Shoubhith Omprakash Kayyar (U-16), Sankara Oyang (U-12), Samora Atubo (U-14), Aaron Kagoda Mugisha, Garry Noah Bigisha, Sean Mulema Wavamunno, Ssengero Ernest Kiggundu, Anabel Mawerere Kirabo, ne Psalm Nicole Tamale abagenda Okuvuganya mu zabali wansi wemyaka 8 ne 12.
Talia Gladys Atubet(U-10), yeyasembayo okuwangulira Uganda omudaali mu mpaka ezaali e South Africa bweyawangula omudaali ogwekikomo nekitiibwa ekya Women’s Candidate Master (WCM) nga omwaka guno mwetegefu okuwangula ekisingako.
Tiimu ya Uganda yaakukulemberwa ssaabawandiisi Wa UCF Eng. Patrick Ojok ne president wekibiina Emanuel Mwaka.
Mwaka mugumu nti tiimu eyunguddwa yaakukola bulungi olwobumanyirivu bwebalina mu mpaka zino.

Omuzannyo gwa Chess
Mwaka yayongeddeko nti Harare egenda kubeera ntabiro egenda okulaga amaanyi ha Uganda wegali mu muzannyo gwa chess mu Africa.
Uganda yaakuvuganya namawanga amalala 17 okuli South Africa, Kenya, Algeria, Zambia, Libya, Botswana, Eswatini, Mozambique, Malawi, Lesotho, Namibia, Egypt, Madagascar, Nigeria, Ghana nabategesi aba Zimbabwe.
Empaka zino zaakuzanyibwa mu round mwenda nga abawanguzi baakulwanira ebitiibwa okuli
International Master (IM) ne Woman International Master (WIM) kwossa no kwetaba mu mpaka zensi yonna ezomwaka ogujja ezigenda okubeera mu kibuga Montesilvano ekya Italy.