Livingstone Mulondo asirisizza abawagizi ba Express oluvannyuma lw'okubateeba ggoolo y'ekyenkanyi mu ddakiika ez'akamalirizo e Wankulukuku.
Vipers ye yasoose okulengera akatimba mu ddakiika ye 10 wabula Murushid Juuko ne Eric Kambale ne baggyawo essanyu lyaabwe.
James Odoch omumyuka wa Wasswa Bbosa omutendesi wa Express yategeezezza nti abazannyi be omuzannyo baagusuulidde mu kitundu ekyokubiri nga bazze bonna mu kuzibira. Express yazze ku bubonero 4 so nga yo Vipers 10.