Kapiteeni wa JT Lady Jaguars atandise okwepikira ekya liigi y'ensero

“Ssinga tukolera wamu nga kitole, awatali kwetiiririra nga tuzannya ttiimu ezirudde mu liigi eno, tusobolera ddala okusuuza abeeyita ab’amaanyi ekikopo.”

Abazannyi ba JT Lady Jaguars nga basanyukira ekikopo.
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision
#basketball #UCU Lady Canons #Gazelles #JT Lady Jaguars #Women’s Division One Championship #YMCA

NGA liigi y’oku ntikko eya basketball ebuzaayo ennaku 4 zokka okuggyibwako akawuuwo, Zainah Lokwameri kapiteeni wa JT Lady Jaguars asabye bazannyi banne obutatiitiira olwa ttiimu ezeeyita ennene kuba ekikopo basobola okukiwangula.

Lokwameri alina obumanyirivu mu liigi eno gye yazannyako sizoni eziwera ng’ali ku UCU Lady Canons bakyampiyoni b’ekikopo kino sizoni ewedde. Abaddeko ne ku JKL Lady Dolphins abaakakiwangula sizoni bbiri emabega ate muzannyi wa ‘Gazelles’ ttiimu y’eggwanga eya basketball abakazi.

Eno ye sizoni ya JT Lady Jaguars esoose okwetaba mu liigi y’oku ntikko, baagyesozze nga tebakubiddwaamu bwe baabadde bawangula ekikopo kya liigi eya wansi (2022 Women’s Division One Championship).

Wiiki ewedde baasitukidde mu kikopo eky’empaka z’olunaku lw’abakyala bwe baakubye St. Noah ku fayinolo eyabadde ku kisaawe kya YMCA e Wandegeya ng’obuwanguzi buno obw’ebikopo ebiri mu wiiki bbiri, buwadde Lokwameri obuvumu nti basobola okusitukira ne mu kya liigi y’oku ntikko.

Lokwameri n'ekikopo.

Lokwameri n'ekikopo.

“Ssinga tukolera wamu nga kitole, awatali kwetiiririra nga tuzannya ttiimu ezirudde mu liigi eno, tusobolera ddala okusuuza abeeyita ab’amaanyi ekikopo,” Lokwameri bwe yategeezezza.

JT Lady Jaguars tebagenda kubeera na bazannyi okuli; Maureen Amoding alina emirimu emitongole ebweru w’eggwanga, Joan Among Okurut ne Joan Tumwine bazzeeyo kusoma, Brenda Ayere yeegasse ku KIU Rangers, Margaret Nassali yeegasse ku Miracle Eagles n’abalala.

Wabula mu kaweefube w’okuziba ebituli bino, baakansizza Ruth Letaru okuva mu KCCA Leopards, Sandra Ayikoru (A1 Challenge), Maimuna Nabbosa okuva ku UCU Lady Canons, Patricia Alado n’abalala.