Enteekateeka eno yatongozeddwa omu ku bakwanaganya pulojekiti eno Jobke Detlef ng’ali wamu n’abakiiko k’essomero ng’ensinsinkano yabadde ku ttabi ly’essomero lino e Jjungo mu Wakiso.
Omukwanaganya wa pulojekiti eno mu Uganda, Ying. Patrick Sekigongo yagambye nti basuubira nga pulojekiti eno egenda kuggwa mu mwaka ogujja era nga basuubira nti obuwumbi 30 bwe bujja okukozesebwa mu pulojekiti eno.

“Ekifo kino kigenda kubeerako ebisaawe okuli eky’omupiira gw’ebigere, ogw’okubaka, ensero, hockey, volleyball, n’emizannyo emirala. Tusuubira nti pulejekiti egenda kwettanirwa bangi,” Sekigongo bweyayongeddeko.
Yakoowodde abantu ab’enjawulo ssaako n’abakungu okwaniriza pulojekiti eno kuba egenda kuvaamu ebibala bingi ssaako okutumbula ebitone by’abayizi mu by’emizannyo.

Ye akulira essomero lya Gayaza Junior School, Sarah Tebugulwa Kizito yagambye nti abayizi be bagenda kukendeeza kundwadde zebalina ate babeere fiiti n’obwongo bwabwe bukyamuke.
Yagambye nti amasomero, abazadde ne ttiimu ez’enjawulo kubyalo zigenda kukozesa ekisaawe kino era ng’essomero kyongere ku nnyingiza yalyo.

“Tusaba minisitule y’ebyemizannyo eveeyo ekwatagane naffe kuba tuyinza okuzuula ebitone by’abaana be tusomesa ate nabo ne babeera baamaanyi mu ggwanga ng’abaddusi be tulabako,” Tebugulwa bwe yayongeddeko.
Jobke yasiimye nnyo ab’essomero ya Gayaza n'asuubiza nti agenda kufuba okulaba nga bakola ekirungi ekyegombesa abalala naddala bannabyamizannyo.