Forest teweereddwa kawaayiro ka kugula Henderson, 25, era tajja kukkirizibwa kuzannya nga ttiimu mwa'alaze ezannya ne Man U mu Premier League. Kinajjukirwa nti n'omuwuwuttanyi wa Man U, James Garner sizoni ewedde yonna agimaze mu kiraabu eno n'agiyambako n'okujja mu Premier.
Dean Henderson Mu Mujoozi Gwa Forest2
United erangiridde mu butongole nti Henderson agenze, ng'ono yazannya emipiira esatu gyokka sizoni ewedde ng'ali wansi wa Ole Gunnar Solskjaer ne Ralf Rangnick.
'' Ndi musanyufu okwegatta ku Nottingham Forest ku bbanja era nneesunga nnyo okubazannyira,'' Henderson bw'awandiise ku mukutu gwe ogwa Twitter.