Ebyemizannyo

Ababadde mu mpaka za Islamic solidarity games e saudi Arabia bakomyewo n'emidaali

Tiimu ya Uganda eyabaddusi ekomyewo mu ggwanga okuva e Saudi Aradia gyebabadde mu mpaka za Islamic solidarity games.   

Abazannyi nga bali ku kisaawe e Ntebe
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

Tiimu ya Uganda eyabaddusi ekomyewo mu ggwanga okuva e Saudi Aradia gyebabadde mu mpaka za Islamic solidarity games.
Uganda yasindika ekibinja kyabaddusi  17 nga bano baawangulidde Uganda emidaali musanvu   Okuli ogwa Zaabu gumu, egya Feeza esatu negy’ekikomo esatu.

Abazannyi nga bali ku kisaawe e Ntebe

Abazannyi nga bali ku kisaawe e Ntebe


Rebecca Chelangat yekka yeyawangulira Uganda omudaali ogwa zaabu mu mbiro eza mmita 10,000 mu bakyala.
Egya Feeza gyawangulwa Samuel Simba mu za mmita 10,000 ezabasajja, Halima Nakaayi mu zammita 800 ezabakyala ne charity Cherop mu za mmita 5000. Samuel Simba, Shida Leni ne Abel Chebet bebawangudde egyekikomo. 

Abazannyi nga bali kisaawe e Ntebe

Abazannyi nga bali kisaawe e Ntebe


Uganda era yawangula emidaali ebiri egya zaabu n’ogwa Feza gumu mu kuwuga nga gyawangulwa Gloria Muzito, Jesse Ssengozi nawangula ogw’ekikomo mu kuwuga ate Alfred Ojok nawangula ogwekikomo mu bikonde. 
Nga gwemulundi ogwasookedde ddala mu byafaayo byempaka zino, Uganda yafunye omudaali ogwekikomo mu Tennis owokumeeza owabakyala ababiri kiyite Doubles nga gwawanguddwa 
Jemimah Nakawala ne Parvin Judith Nangonzi.
Omugatte Uganda yafunye emidaali 13 nemalira mu kifo kya 16 ku mawanga 57 ageetaba mu mpaka zomwaka guno.
Tags: