Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa chess mu ggwanga ekya Uganda Chess Federation kigenda kulonda President omuggya ku ssande eno mu lukungaana oluggalawo omwaka luyite Annual General Meeting. Kino kiddiridde president aliko Eng. Emanuel Mwaka okusalawo okuwummula emirimu gyamazeeko emyaka mwenda.
Eng. Mwaka eyakwata enkassi mu January wa 2017 nga adda mu bigere bya Vianney Luggya alesewo enkyukakyuka ezomuggundu mu muzannyo gwa Chess mu Uganda ekigufudde ogumu ku mizannyo egisinga okukula mu ggwanga.

Mwaka nga akwasa omu kubawanguzi ekikopo
Wansi wobukulembeze bwe omuwendo gwa club ezeewandiisa nekibiina gweyongera, yatongoza semateeka omupya nokusitula ekibiina kyomuzannyo gwa Chess okuva ku ssa eryokuna okutuusa ku ssa eryokusatu wansi wakakiiko akalondoola enzirukanya yemizannyo mu ggwanga aka National Council of Sports nga kati bali ku mutendera gwegumu nemizannyo nga ebikonde n’okubaka.
Nga ayogera ku bukulembeze bwe, Mwaka ayogedde ku byatuseeko omuli okwefuga empaka zamawanga ga Africa ezenjawulo saako nempaka zabakyayiga ezensi yonna nezamassomero.
” Tugezezaako okwetaba kumpi mu mpaka zonna ezomuzinzi okutandikira ku zabato mu 2017, ezamassomero ga Africa mu 2018, nomudaali gwa Zaabu ogwasookera ddala mu mpaka zabali wansi wemyaka 16 mu 2019 nomudaali ogwa Feeza mu mpaka zabavubuka eza Africa mu 2017 ne 2025”, Mwaka bweyagambye.
Mwaka era yeenyigira mu kaweefube w’okubangula abasazi bomuzanyo gwa Chess bayite Arbitors abawerera ddala 10 n’okuzzaawo empaka z’amassomero eza Father Grimes National Schools Championship nga alinyisa tiimu ezaali zeetabamu okuva ku tiimu 12 okutuuka ku tiimu 250 waviiridewo.
Abayizi abasoba mu 1000 baganyuddwa mu basale ezokusomera ku muzannyo gwa Chess saako ne sikaala ku University n’amassomero ga Primary ne Secondary okwetoloola eggwanga.

Mwaka ku ddyo nga akwasa abwanguzi ekikopo ne ssente
Wabula obo yatuukira mu mabanja nga ekibiina yakisanga kibanjibwa obukadde obusoba mu 70 wabula nga waaviiriddewo nga tewali abanja ate nga ekitongole ku akawunti kuliko ensimbi ezikiyamba okuddukanya emirimu egyenjawulo saako nembalirira ku buli nnusu eva mu gavumenti.
“ ebyokusomooza bibadde bingi omuli nokuweebwa ensimbi ezomunyoto naye bino byonna binnyambyeko okuleka omukululo ogwobuweereza obw’omuzinzi, obuyiiya n’okwewaayo eri ekibiina”.
Nga ateekateeka okuwaayo wofiisi nga ennaku zomwezi 30 omwezi guno, Mwaka agamba nti mugumu nti omuntu yenna anaamuddira mu bigere agenda kusanga embeera ennungi mwasobola okukolera emirimu.
Abantu basatu bamaze okwesowolayo okulaba nga baddira Mwaka mu bigere mu kulonda okugenda okubeerawo mu lukungaana oluggalawo omwaka