Munnayuganda omuddusi w’embiro empanvu Joshua Chheptegei yatuuse dda mu kibuga Rome ekya Italy okwetaba mu mpaka za Golden Gala diamond league ezokubaawo ku lwokutaano lwa wiiki eno.
Cheptegei wakuvuganya mu mbiro za mmita 5000 nga agenda kuba atunka nabaddusi banakiinku abamanya okuva mu mawanga agenjawulo.
Cheptegei agenda mu mapaka zino nga yasinza obudde obulungi sizoni eno mubaddusi bagenda okudduka nabo mu mbiro za kilomitta 5000 bwa ddakiika 12 nesekonda 35 nobutundu 36.
Cheptegei ng'ali mukutendekebwa
Cheptegei abadde yasemba okubeera mu nsiike mu mwezi ogwokusatu (March) nga yali avuganya mu misinde gya New York Half Marathon nga yamalirira mu kifo kya kubiri emabega wa munnayuganda munne Jacob Kiplimo.
E Rome, Cheptegei agenda kuba atunka ne selemon Barega enzalwa ya Ethiopia nga ono ajukirwa nnyo mu mizannyo gya Olympics awa 2021 egyali mu kibuga Tokyo ekya Japan bweyasuuza Cheptegei omuddaali ogwa zaabu mu mbiro za mmita 10,000 nga Cheptegei yamalirira mu kyakubiri.
Abaddusi abalala Cheptegei bagenda okuba nga atunka nabo ye Ahmed Muhammed enzalwa ya Canada, Andrreas Almgren enzalwa ya Sweeden, Telahun Bekele ne Berihu Aregawi nga bombi nzalwa za Ethiopia