BUDDO SS eyakiikirira Uganda mu mizannyo gy’amasomero ga siniya egya Afrika, eri mu nsiike leero ng’ebala kutandika na buwanguzi. Emizannyo gino giri mu Algeria.
Buddo okukiika kyaddirira okuwangula kikopo ky’amasomero ga siniya mu mpaka z’eggwanga. Leero ettunka ne ttiimu ye Tunisia mu kibuga Constantine mu guggulawo empaka zino.
Ttimu zino ziri mu bibinja 3 nga Uganda (Buddo) eri mu kibinja A omuli, Tunisia ne Ivory Coast.
Ttiimu ekulembedde yokka y’eva mu kibinja okugenda ku semi n’endala emu eneesinga okukola obulungi ku zinaamalira mu kifo ekyokubiri. Omutendesi wa Buddo, Richard Malinga yagambye nti Tunisa tebagitidde.
Mu ngeri y’emu, ttiimu ya Uganda ey’ensero owa 3x3 mu balenzi, yawanduse olw’okukubwa Ghana (13-7) ne Rwanda (15-9). Seroma Christian High School ye yakiikirira Uganda mu basketball ow’abakazi n’abasajja.
Mu bawala, Benin yakubye Uganda (21-13). Mu Beach volley ball, Uganda (Ngora High) yakubiddwa Algeria obugoba 2-0.