Beach Volleyball Abalenzi
Comoros 2-0 Uganda
Tennis Abawala
Kwapi Martha (UGA) 6-4 Koyongo Esther (DRC)
Thea Miranda (UGA) 2-6 Collins Eduafo ( GHA)
Mupiira
Ivory coast 1-0 Uganda
Leero
Semi Finals
Uganda ne Algeria ssawa 3 ezekiro, Annaba
Emisinde
100m finals Abalenzi
400m finals Abalenzi
1500m finals Abalenzi,Kizito Loput.
Tiimu ya Buddo esanze abategesi aba Algeria ku luzannya oluddirira olwakamalirizo. Omupiira guno gwakubeera mu bwaguuga bwekisaawe kya Stade 19 Mai 1956 ekituuza abantu abasukka mu 56,000 mu kibuga Annaba.
Buddo okusanga omutegesi kyaddiridde okukubwa omuzannyo gwabwe ogwasembyeyo mu kibinja tiimu ya Ivory Coast bweyabakubye goolo 1-0 ku lwokuna mu kibuga Constantine.
Buddo yajja mu mupiira ogwo nga eyagala maliri gokka okuyitawo nga ekulembedde ekibinja wabula tekyasobose. Baakubiddwa peneti mu dakiika eye 73 oluvannyuma lwomuzibizi Yunus Vvubya okusika omuteebi wa Ivory Coast mu ntabwe.
Guno gwabadde mulundi gwakubiri nga Buddo bagikuba peneti kumpi nga zifaanagana ekiraga obutali bukakkamu mu kitongole kyabwe ekizibizi.

Abazannyi ba Buddo mu kifaananyi
Buddo yasubiddwa emikisa egiwerako naddala mu kitundu ekisooka nga kyakatandika yadde nga Ivory Coast yeefuze omupiira. Mu kitundu ekyokubiri Buddo yakoze ennumba ezokumukumu oluvannyuma lwokuleeta omuwuwutanyi Babi Abdul Shakur wabula nezitavaamu kalungi.
Mu dakiika eye 85 Buddo yafuna goolo eyekyenkanyi wabula omuwuubi wakatambuula nagitta nga agamba yali akuumye.
Kapiteeni wa Buddo Dickson Baraza mugumu nti yadde baakubiddwa bajja kukomawo mu luzannya oluddirira olwakamalirizo nga beeterezezza.
Ye omutendesi qa Buddo Richard Malinga teyabadde musanyufu ne nnamula yomupiira era yagaanye nokwogera nabaamawulire.
Mu ngeri yemu Tiimu ya Uganda eyaabaddusi ekomawo mu nsiike olwaleero nga abaddusi okuli Abraham Muhwezi ne Rasha Atuyambe badduka mu mbiro za mmita 100 ne mmita 400.
Ye musaayimuto Loput Kizito eyawangulira Uganda omudaali ogwekikomo mu mizannyo gya ISF egyali mu Serbia ajja mu nsiike olwaleero okugezaako okuwangulirayo Uganda mu mbiro zezimu.