OMUGGUNZI w’eng’uumi, Ronald Gayita, asirisizza Ezra Ssali bwe batalima kambugu, bw’amukubye ekikonde ‘tonziriranga’ n’amuleka ng’ayooya busera.
Baabadde battunkira mu liigi y’eggwanga ey’ebikonde emanyiddwa nga ‘UBF Boxing Champions League’, eyazzeemu okutojjera ku’ MTN Arena’ e Lugogo, ng’olulwana olukulu lwabadde wakati wa Gayita ne Ssali abali akabwa n’engo.
Gayita owa ‘COBAP Boxing Club’, yafukiridde Ssali owa Kalinabiri, ebikonde ebikirako amazzi era teyasimattuse laawundi yaakubiri n’amuliisa ebigambo bye oluvannyuma lw’okumala ebbanga ng’amwepikira. Battunkidde mu buzito bwa ‘Fly’, kkiro 52.
Mu nnwaana endala, Shafic Mawanda yakubye Aaron Iga ku bubonero 5-0 mu buzito bwa ‘L/Fly’, Frank Bwire n’awumiza Elijah Kakembo ‘tonziriranga’ mu laawundi esooka mu buzito bwa ‘Feather’, Moses Luswata n’aggunda Arafat Sembatya mu buzito bwa ‘Cruiser’, n’endala.
Frank Bwire (ku ddyo)yakubye Elijah Kakembo (ku kkono), mu buzito bwa 'Feather'