ABAKUBI b’ebikonde Isaac Zebra Ssenyange Jr. ne Jonah Kyobe balinze ffirimbi yokka bayingire emiguwa mu mizannyo gya Commonwealth egiyindira mu kibuga Birmingham e Bungereza.
Ssenyange Jr mutabani w’omugenzi Zebra Ssenyange waakuttunka ne Rena Pakela munnansi wa Lesotho mu buzito bwa ‘Light Middle’ ku luzannya lwa 32 enkya (Lwamukaaga) ssaawa 9:30 ez’emisana. Battunkira mu Solihull National Exhibition Centre nga Ssenyange aweze okukola ekisobooka afune obuwanguzi.
Isaac Ssenyange
Kyobe, waakwabika ne George Molwantwa owa Botswana mu buzito bwa ‘Feather’ ku ssaawa 8:00 nga naye ayogeza maanyi nga bwakimye obuwanguzi.
Kyobe
Leero ku saawa 8:00, kapiteeni wa The Bombers Joshua Tukamuhebwa ali mu nsiike mu buzito bwa Light welter mw’attunkira ne John Paul Hale owa Northern Ireland.
Emizannyo gya Commonwealth eggulo lwe gyagiddwaako akawuuwo mu butongole. Uganda yatutte abeekikonde 6 ng’abalala kuliko Tedday Nakimuli ow’okuttunka ne Sara Hagnighat-Joo (Sierra. Leone), Owen Kibira agenda okuttunka ne Hossan Ali (Bangladesh) ne Yusuf Nkobeza alinze omuwanguzi wakati wa Lewis Richardson (Bungereza) ne Haaris Khan (Wales).