Lwaki Trump agobye aduumira amagye ga America ne bagenero 5

PULEZIDENTI wa America, Donald Trump 78 agobye omuduumizi w'amagye g'eggwanga ne ba genero 5 n'awera okwongera okugogola kye yayise kacica wa Joe Biden gwe yaddidde mu bigere!

Lwaki Trump agobye aduumira amagye ga America ne bagenero 5
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Amerika #Trump #Poliisi #Kugoba

PULEZIDENTI wa America, Donald Trump 78 agobye omuduumizi w'amagye g'eggwanga ne ba genero 5 n'awera okwongera okugogola kye yayise kacica wa Joe Biden gwe yaddidde mu bigere!

Lisa Franchetti abadde akulira eggye ly'oku mazzi.

Lisa Franchetti abadde akulira eggye ly'oku mazzi.

Gen. Charles Q. Brown Jr. abadde asinga okumanyibwa nga Gen. CQ nga ye muddugavu owokubiri mu byafaayo bya America okuduumira amagye, Trump yamugobedde ku mukutu gwa 'Social Media' era amawulire omugobe gaamusanze ku mulimu ku nsalo ya America ne Mexico awa ebiragiro eri amagye agaakayiibwayo okutangira abagwira.

Mu bubaka obugoba Gen. CQ,  Trump yasoose kumuwaana nti musajja w'amaanyi era musukkulumu nti aweerezza amagye ga America okumala emyaka 40 wabula kye kiseera addeko ebbali n'alangirira nti aleese Lt. Gen. Dan
Caine okumuddirira mu bigere.

Ensonda zaategeezezza nti Trump aludde nga yasalawo dda okugoba Gen. CQ kyokka ng'akyanoonya gw'agenda okuwa ekifo ekyo.

Kigambibwa nti Trump obuzibu bwe ne CQ buli ku bintu bingi omuli eky'okuba nga CQ awagiramamagye ga America gabeemu abantu aba langi ez'enjawulo, okubaamu abantu abeekyusa ne bafuuka abakazi oba abasajja era abadde alwanyisa obusosoze mu langi.

Trump, pulezidenti wa Amerika aliko kati.

Trump, pulezidenti wa Amerika aliko kati.

EBIKWATA KU MUDUUMIZI OMUPYA
Lt. Gen Caine kafulu mu kubonga ennyonyi ennwaanyi kyokka abadde yaakawummula eby’amagye.

Caine yali musaale mu kubonga ennyonyi ekika kya F-16 z’azze akozesa okukuba bannalukalala ba ISIS mu kyondo kya Buwarabu
n’awummula mu December w’omwaka oguwedde.

Ayagala amumalirewo entalo z’obutujju eziri mu bitundu ebyo naddala wakati wa Yisirayiri ne Hamas mu Gaza abakolagana ne Hezbollah mu Lebanon nga bayambibwako aba Houthi mu Yemen.

Ayagala amulukire ne ppulaani entuufu okukomeza ddala olutalo lwa Ukraine gy’amaze wiiki ng’attunka ne Pulezidenti waayo gwe yayise kazannyirizi owa komedi, nakyemalira atalina ky’asobola mu by’enteeseganya z’okukomya olutalo ate nga tawuliriza bamusinga.

 

ABALALA ABAAGOBEDDWA
Abalala abaagobeddwa okusinziira ku mawulire ga Reuters kuliko;  Akulira eggye ly’oku mazzi erya U.S. Navy, Lisa Franchetti nga ye mukyala eyali asoose okukulembera eggye eryo. Okusinziira ku mukutu gwa Wikipedia, lye lisinga
amaanyi mu nsi.

Y’abadde akulira emmeeri za America zonna 11 enneetissi z’ennyonyi. Abadde akulira abajaasi 336,978 abali ku mulimu n’abalala 101,583 ababa balinze okubayita.  Omulala y’amyuka abadde akulira eggye eryo mu bbanga ku
kifo ekimanyiddwa nga Air force vice chief of staff. 

Eyagobeddwa okusinziira ku mawulire ga The Times of India ye James Slife. Abalala basatu nabo baagobeddwa mu bubaka oluvannyuma obwasomeddwa minisita wa America ow’ebyokwerinda, Pete Hegseth.

Yeebazizza Brown emyaka 40 gy’amaze mu ggye eryo ng’akola obutaweera. Pete nga yali munnamagye n’abiwummula n’akola nga munnamawulire wa Fox News, alina ekitabo kye yawandiika ne yeebuuza oba Brown omulimu ogwo yagufuna lwa langi ye oba bukozi bwe.

Ekitabo amawulire ga Reuters gaakiyise, ‘The War on Warriors’ Behind the Betrayal of the Men Who Keep Us Free’ yamaliriza tawunzise ngeri Brown gye yafuna kifo n’agamba nti, kasita akola.