Yiga owa Steel and Tube ne mukyala we bazimbye amaka agatemya ng'omuntu

OMUSUUBUZI Joseph Yiga ne Mukyalawe Regina  Nabiwanso Yiga aba Steel & Tube,kkampuni ekola emitayimbwa n’ebizimbisibwa baazimbye amaka  kwookomya amaaso ku kyalo Nangombe mu muluka gw’e Ssazi mu ggombolola Ssabawaali Kasanje- Wakiso mu ssaza ly’e Busiro.

Amaka agaatumiddwa Avellino Waterfront agasangibwa e kasanje mu Busiro
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

OMUSUUBUZI Joseph Yiga ne Mukyalawe Regina  Nabiwanso Yiga aba Steel & Tube,kkampuni ekola emitayimbwa n’ebizimbisibwa baazimbye amaka  kwookomya amaaso ku kyalo Nangombe mu muluka gw’e Ssazi mu ggombolola Ssabawaali Kasanje- Wakiso mu ssaza ly’e Busiro.

Ebimu ku bifaananyi ebyateereddwa mu nnyumba

Ebimu ku bifaananyi ebyateereddwa mu nnyumba

 Amaka gano gaatuumiddwa Avellino Waterfront nga kyabbuddwa mu mutukuvu Silvester I owe Yitale era azaalibwa ku mutala Avellino ng’ono obuserikale bwabwe obwa Paap bwe baafuna mu 2021,yeyabakwasibwa.

Ekifo kino kisobola okukozesebwa mu kutegeka emikolo,kiriko ebisulo,ebifo awawugirwa n’awazanyirwa. Abaserikale ba Paapa bano baakiguddewo nga bajjaguza okuweza 35 mu bufumbo obutukuvu ate n’okwebaza Katonda olw’okufuulibwa abaserikale ba Paapa.

Amaka

Amaka

Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala yeyagguddewo ekifo kino,ekiri ekitundu ku ttaka lya yiika 100 abasuubuzi bano lyebalina mu kifo ekiriraanye ennyanja Nnalubaale.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebadde omugenyi omukulu nga yasabye abasuubuzi okutwala obuvunanyizibwa okuyigiriza abantu okumala engeri entuufu ey’okukolamu ssente n’okuzisiga mu kifo ky’okulowooza nti zifunibwa mu ngeri ya kuweebwa oba okukulupya.

Omukolo gwetabiddwako abantu bangi okuli Nnabagereka Nagginda,Omulangira David Kintu Wasajja,Omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda eyawummula Kiwanuka Ssekandi,Minisita w’emirimu n’entambula mu Uganda,Gen. Katumba Wamala,Abasumba okuli owe Masaka,Kasana-Luweero,Lugazi ate n’Omubaka wa Paapa eyawummula Ssabasumba Augustine Kasujja.

Bayiga baategezezza nti ensimbi ezinaava mu bintu ebyo ebinakozesebwa abantu,zakuyambako okutambuza emirimu gya kereziya