Ebyabadde mu ttabamiruka wa NUP

ABA NUP batuuzizza ttabamuiruka waabwe wakati mu kwekengera ne bamuyisa mu bwangu okufaananako ng’omukyala aziika muggya we.

Robert Kyagulanyi Ssentamu (mu ssuuti) ng’atuuka ku kitebe kya NUP e Kamwokya.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABA NUP batuuzizza ttabamuiruka waabwe wakati mu kwekengera ne bamuyisa mu bwangu okufaananako ng’omukyala aziika muggya we.
Baatandise ku ssaawa 5:00 ez’oku makya eggulo ku ttendekero ly’ekibiina kyabwe ery’ebyobufuzi eriyitibwa NUP School of Leadership e Kamwokya, era we zaaweredde essaawa 10:00 ez’akawungeezi nga baabuse.
Abakulembeze baatandise okutuuka ku kitebe ku ssaawa 2:00 ez’oku makya era bakira bayingirawo mu kimpoowooze. Ku ggeeti kwabaddeko abaserikale abakuuma ku kitebe nga balina olukalala okuli amannya g’abakiise abaayitiddwa.
Olukalala lwabaddeko amannya 127 ng’omuntu ataliiko takkirizibwa kuyingira. Waliwo abazze nga balowooza bammemba olw’okuba baavuganyaako ku kifo ky’obubaka bwa Palamenti wabula tebakkiriziddwa kuyingira.
Pulezidenti w’ekibiina, Robert Kyagulanyi Ssentamu yatuuse ng’abanene abalala mu kibiina baayingidde.
Ku pulogulaamu kwabaddeko pulezidenti okusooka okwogera eri abakiise oluvannyuma bafune lipooti ssaako ebiteesebwa eby’enjawulo.
Ttabamiruka yasoose kuyisa biteeso ebivumirira ebitongole ebikuumaddembe okutulugunya abawagizi baabwe n’okubaggalira mu makomera.
Bakkiriziganyizza nti, Ssemateeka gwe baali bakozeemu ennongoosereza kyokka akakiiko k’ebyokulonda ne kagaana okumutongoza basooke bamusse ku bbali baddeyo ku Ssemateeka eyasooka era mwe baalondedde.
Baavumiridde okulonda kw’abavubuka okwategekeddwa olwa aba NRM okulemesa abavubuka baabwe okuvuganya n’ekigendererwa ky’okwekomya ebifo byonna.
Oluvannyuma baatuuse ku kulonda era abaabadde beesimbye ku bifo ebimu ne basabibwa abamu balekere bannaabweku lw’obulungi bw’ekibiina.
Omu ku baavuddemu ye mubaka owa Makindye West, Allan Ssewanyana eyalekedde akulira oludda oluvuganya Joel Ssenyonyi ku ky’omwogezi w’ekibiina.
OLUKIIKO OLUPYA;
Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) teyavuganyiziddwa n’ayongerwa emyaka etaano okutuuka 2030.
Ssaabawandiisi w’ekibiina, David Lewis Rubongoya teyavuganyiziddwa.
Omuwanika Benjamin Katana teyavuganyiziddwa.
Omwogezi w’ekibiina, Joel Ssenyonyi teyavuganyiziddwa.
Akulira abakyala, Flavia Kalule Nabagabe teyavuganyiziddwa.
Ssaabakunzi omuggya ye Habib Buwembo eyakansibwa mu FDC era teyavuganyiziddwa.
Akola ku nsonga z’ebweru ye Fred Nyanzi.
Benjamin Akiso, akulira abayizi e Kyambogo ye yawangudde eky’okukulira amatendekero.
Ebifo ebirala ebyasigaddewo bye byabaddeko okuvuganya okw’amaanyi bagenda kufulumya olukalala lw’abakulembeze abalala ng’obululu bumaze okubalibwa.
ABAKULEMBEZE
Joel Ssenyonyi, yagambye nti, wabaddewo ababadde babakolerera okubalemesa okutuuza ttabamiruka oyo kyokka baalemeddwa era buli kimu kikoleddwa bulungi.
Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana yagambye nti, yalekedde Ssenyonyi mu mutima mulungi ogwa demokulaase waabwe n’okuba nti, amusingako.
Omubaka w’e Mukono, munisipaali Betty Nambooze Bakireke yagambye nti, Ttabamiruka abadde mulungi nnyo era byonna ebivuddemu babikkiriziganyizaako.
Omubaka Gonzaga Ssewungu owa Kalungu West yasiimye Kyagulanyi olw’okubakulembera obulungi nga y’ensonga lwaki tewali amuvuganyizza ne bamwongera emyaka emirala etaano.
Wayiseewo akaseera katono abawanguzi ne balayizibwa ttabamiruka n’aggalwawo