Bya Eria Luyimbazi
OMUSAJJA yeekyaye ne yeeyambula n’asiagala bute ng'awakanya abaserikale okumutwala mu kkooti nga tebamuwadde ssente ze ze baamukwata nazo ne bazitereka.
Steve Bulusi ye yatabuse ne yeeyambula engoye zonna ng'awakanya abaserikale ku poliisi ya CPS okumutwala mu kkooti ya Buganda Road nga tebamuwadde ssente ze.
Bino byabaddewo lwaleero nga Bulusi okutuuka ku kino yalabye abaserikale bamufulumya ekizimbe kya poliisi ya CPS n’atabuka n'aggyamu engoye zonna ng’ agamba nti ayagala ssente ze.
"Lwaki muntwala mu kkooti nga temumbadde ssente zange emitwalo 30 ze mwatereka mulabika mulina olukwe lw’okuzeezibika." Bulusi bwe yagambye.
Wabula okweyambula engoye n’asigala bukunya tekyagaanyi baserikale kumutwala mu kkooti.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Luke Owoyesigyire yagambye nti Bulusi yakwatibwa ne banne olw’okubba ebintu ku loole ku Arua Park n’aggalirwa ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. Omusango guli ku fayiro namba CRB 991/2021
Yagambye fayiro yakomyeewo okuva ew'omuwaabi wa gavumenti ng’eragira Bulusi ne banne batwalibwe mu kkooti bavunaanibwe ekyakoleddwa.
Yategeezezza nti abaserikale we baatwalidde Bulusi mu kkooti omuserikale alina ekisumuluzo kya sitoowa omukuumibwa ebintu by’abasibiddwa mu kadduukulu yabadde taliiwo .