Bya Emmanuel Balukusa , Buikwe
Abaserikale ba poliisi y’e Njeru ssaako n’eya Mabira baakoze ekikwekweto mu munisipaali y’e Njeru omusajja ne yeezooba n’abaserikale bwe yasangiddwa ng’ atamidde era ono olwagezezaako okumukwata n’abeeyambulira naye oluvannyuma baamusinzizza amaanyi era ne bamuggalila mu kadduukulu e Nakibizzi.
Omutamiivu Poliisi Ng'esitudde Omutamiivu
Omutamiivu Ng'agezaako Okwetaasa Ku Poliisi.
Omutamiivu Ng'agezaako Okukuba Enduulu.
Omutamiivu Wano Ng'amaanyi Galabika Gamuwedde.
Ebikwekweto bino byakuliddwaamu atwala Polisi ya Ssezibwa, Caroline Akoth mu bitundu okuli, Wampala, Namwezi, Ntinda, Nakibizzi ssaako ne Naminya.