Frank Butaayi omusumba w’ekkanisa ya Restoration Assembly esangibwa e Nakulabye mu minisipaali y'e Lubaga yasinzidde ku mukolo gw’okusabira abayizi okuva ku primary okutuuka ku Yunivasite mwe yabaweeredde ebikozesebwa ku ssomero okwabaadde ebitabo n’ebirala.
Omusumba Butaayi Ng'akwasa Abayizi Ebitabo (8) (1)
Yategeezezza nti abantu bangi waliwo abantu Katonda be yawa ssente nga balina okulumirirwa abatalina babawe ebimu ku byetaago basobole okufuna omukisa ewa Katonda nga kyongera ne nkufuna yaabwe .....
Omusumba Butaayi Ng'akwasa Abayizi Ebitabo (8)
Yavumiridde n’omusumba eyalabikidde mu mawulire ng’akuba abantu kibooko kye yagambye nti yeetaaga kufuna kubuulirirwa mu basumba kuba ekikolwa kye yakoze si kya bwakatonda .
Ku nsonga y’omusajja eyeeyambudde yakitadde ku bazadde ku nkuza y’abaana ng’omwana akuziddwa ng’atya katonda tasoboola kukola kikolwa kikyamu .