OMULABIRIZI w'e Namirembe, Moses Banja asomoozezza abakkiriza okulabira ku bajulizi ba Uganda abattibwa olw’eddiini, nga bakoppa okukkiriza kwabwe n’obumalirivu bye baalina.
Banja yagambye nti abakristaayo bangi betiriridde abamu ne basalawo n’okukola ebitaliimu nsa olw’okutisibwatisibwa olwo ne bawunzika nga bafunye ebibasomooza ate bye batasobola kuvvunuka.
Okwogera bino, Banja yasinzidde mu kkanisa ya All Saints Anglican Mission Church of Uganda e Boston mu America obulabirizi bw’e Namirembe bwe bwaabadde bukuza olunaku lw’abajulizi abattibwa nga June 3, 1887 e Namugongo.
“Mubuli kyetukola, tulina okulabira ku bajulizi abo abaali abavumu, abataava mu Katonda wabwe era nebasalawo okufiira mu mukama. Bangi ku ffe tuwubisiddwa netutuuka n’okuva ku Katonda netukola ebikolwa ebitajja nsa.” Banja bweyayongeddeko.

Okujjukira Abajulizi ba Uganda mu America
Yeebazizza nnyo omusumba w’ekkanisa eno, Rev Dr. Emmanuel Kiwummulo olw’obuwereza obulungi ssaako okutekawo olunaku luno abakristaayo abawangalira mu America nebasobola okukunganira ewamu nebajjukira abajulizi.
Banja yakutidde abawereza bulijjo era okuba abesimbu, abesigwa ssaako abatambulira ku mulamwa gw’okumanyisa abantu ebikolwa by’obwa Katonda, olwo bafuuke abantu abalina eby’okulabirako ebirungi.
Mukusaba kuno, Banja yakwasizza Rev. Dr. Kiwumulo layisinsi y'obulabirizi bw'e Namirembe era Kiwumulo nakakasa okubeera omubaka omulungi ow'obulabirizi mu Diaspora mu kkanisa ya All Saints Anglican Mission Church of Uganda ng’eno nayo erabiribwa obulabirizi bwe Namirembe.
Oluvannyuma lw'okusaba, abakristaayo betabye ku kijjulo ekyabaddeko okusanyusibwa n'ennyimba ezitendereza omutonzi kwossa neezo ezinnyonnyola engeri abajulizi gye battibwamu mubukambwe.
Abaawerekeddeko omulabirizi Banja kuliko mukyala we Rev. Canon Prof. Olivia Nassaka Banja, Ssabadinkoni we Mengo, Ven Canon Isaac Membe Kijjambu ne Rev Canon Samuel Mwesigwa okuva mubulabirizi bwa West Buganda.