Wabaddewo akasattiro lukululana bw'ekutte omuliro n'ebengeyeza ku ttaawo waggulu okumpi ne ssaawa ya queen mu Kampala ku makya leero.
Poliisi e Katwe, ebuuliriza ku kiki ekiyinza okuba nga kyekivuddeko omuliro guno ogukutte lukululana nnamba UBG 431 P/ UBG 168 P egambibwa okuba eya Iron Air Force Company.
E mmotoka eno, ebadde evugibwa Paul Gabriel Okada, kigambibwa ebadde yetisse bokisi omutali bintu okuva e Mukono okudda e Ntebe.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, agambye nti dereeva abannyonnyodde nga e mmotoka bw'ebadde yafunyemu okubuguma mu ntandikwa.
Agasseeko nti, basobodde okugizikiriza ng'okunoonyereza kugenda mu maaso