Amawulire

Agambibwa okukasukira mmotoka ya poliisi ejjinja erigyasizza akwatiddwa poliisi

Omuvubuka agambibwa okukasukirira mmotoka ya poliisi ejjinja erigyasizza endabirwamu, akwatiddwa poliisi e Bulenga.

Agambibwa okukasukira mmotoka ya poliisi ejjinja erigyasizza akwatiddwa poliisi
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Omuvubuka agambibwa okukasukirira emmotoka ya poliisi ejjinja erigyasizza endabirwamu, akwatiddwa poliisi e Bulenga.

 

Deo kabira 25, y'agambibwa okukuba emmotoka ya poliisi nnamba UP 9770 mu zzooni ya Lufula mu muluka gw'e Nakabugo e Wakiso.

 

Kitegeezeddwa nti poliisi yabadde egezaako okugumbulula abamu ku bawagizi b'ekibiina kya NUP okuva mu kkubo omukulembeze waabwe, Robert Kyagulanyi Sentamu, bwe yabadde ayolekera Sentema.

 

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, gaambye nti okubuuliriza n'okunoonya abalala abeetabye mu ffujjo, kugenda mu maaso.

Tags:
AMawulire
Mmotoka
Poliisi
Jinja
Bulenga
Kukwatibwa