Omukazi agambibwa okukkakkana ku muwagizi w'ekibiina kya NRM n'amukuba n'okumuyuliza omujoozi, akwatiddwa poliisi e Katwe.
Bibadde mu zzooni ya Kavule e Katwe mu munisipaali y'e Makindye mu Kampala.
Poliisi ekutte Gladys Rebecca Nakanwagi 57, nga bamulumiriza okukuba Mariam Namutebi 65 n'amulumya n'okumuyuliza engoye.
Namutebi kigambibwa nti abadde ayambadde omujoozi ogwakyenvu okuli ekifaananyi kya Pulezidenti Museveni era nga mu vidiyo, gulabika nga guyuziddwa ku bulago.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti Nakanwagi bamukutte ne bamuggalira ku poliisi e Katwe era n'akubiriza abantu okwewala okutwalira amateeka mu ngalo.
Abasaba okubeera abakakkamu naddala mu nnaku zino ezibulayo okutuuka mu kulonda.