KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti kikulu nnyo abaana okukuzibwa nga bayonjo okuviira ddala buto nga kyakubayamba mu nkolagana n’abantu obulungi.
Abasaakaate ng bali ne Maama Nnabagereka wamu en Katikkiro
Okwogera bino yabadde akyadde mu mbuga y’Ekisakaate Kya Nnaabagereka ekibumbujjira ku Hormisdallen P/S e Gayaza mu ssaza ly’e Kyadondo ku Lwokuna n'agamba nti obuyonjo bukulu ng’ate ky’ekimu ku bibayigirizibwa mu Kisaakaate kino.
“Kikulu nnyo abaana okuva buto nga bamanyi omugaso gw’obuyonjo. Kiyamba ku nkolagana n’abantu abalala. Onakolagana naani nga toli muyonjo, abantu bajja mu ofiisi zo nga buli kintu kiri waakyo. Kirungi nti wano muyigirizibwa obuyonjo,” Mayiga bweyayogedde.
Katikkiro Mayiga yasabye Abasaakaate bano mu buli kyebakola mu bulamu okulemerako okutuusa lwebatuuka ku buwanguzi n’awa eky’okulabirako kya Bannabyamizannyo nti tebaggwamu ssuubi, buli kadde bajja kuwangula.

Omusakaate ng'agabula Katikkiro Cake
Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda era avunanyizibwa ku ofiisi ya Nnaabagereka, Coltilda Nakate Kikomeko yebazizza abazadde abaawaddeyo abaana okujja okuyigirizibwa saako n’okwebaza ab’essomero lino abawaddeyo embuga eno okuyigiriza abaana.
Adrian Mukiibi nga y’akulira Nnaabagereka Development Foundation yategeezzezza ng’abaana mu mulembe guno bwebatendewalirwa mangu ekintu ekibaviirako okutawanyizibwa mu bwongo nga kati mu kisaakaate kino babatereddemu ebintu ebiyambye okuzimba obusobozi bwaabwe, okubyanganga.
Abaana abali mu kisaakaate boogedde ebintu eby’enjawulo byebayize byebasuubira nti bwebanadda mu bakadde baabwe okubiteeka mu nkola.

Maana Nnaabagereka ng'atuuka mu Kisakaate
Ekisaakeete kino kyatandise nga January 2,2026 nga kitambulira wansi w’omulamwa ogugamba nti “Ensibuko y’Obumalirivu: Okweyamba obuntubulamu mu kutebenkeza obwongo” ate kyakukomekkerezebwa nga January 10,2026.
Ekisaakaate kino kiwagiddwa National Drug Authority (NDA), Finance Trust Bank, Uganda Red Cross Society, MTN Momo, Liberty Insurance n'ebitongole ebirala.