Amawulire

Victoria Yunivasite etongozza kkooti ey'okutabaganya obutakkaanya mu bayizi

VICTORIA University esabukuludde pulani ya myaka ettaano mwegenda okuyita okufuka       yunivasite esiiga okusomesa ebya tekinologiya mu buvanjuba bwa Afrika

Team ya Victoria Yunivasite
By: Joseph Makumbi, Journalists @New Vision

ABA Victoria University batongozza ‘kkooti’ egenda okuwulira n’okutabaganya abayizi abafunye obuzibu.  Bannabyanjigiriza ne bawa Yunivasite endala mu ggwanga amagezi okutema empenda z’okugonjoola obutakkaanya mu bayizi.

Kkooti eno eyatuumiddwa Victoria University Tribunal yatongozeddwa ku Lwakutaano ku Speke Resort e Munyonyo ng’eno yaakutuulako abakiikirira abayizi, abasomesa n'abakozi.

Victoria Yunivasite

Victoria Yunivasite

Bwe yabadde atongoza kkooti eno, omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road, Ronald Kayizzi yagambye nti obutakkaanya ku ssaawa eno bugazi nga busobola okuva ku bintu ebiwerako omuli obuzibu ku bwongo, enkozesa ya tekinologiya, obutateegeragana mu bya buwangwa na nnono ssaako enjawukana mu by’obufuzi.

Omulamuzi Kayizzi yagambye nti kkooti eno y’erina okusokerwako ku nsonga zonna ezirimu obutakkaanya mu university ng’okutuuka mu kkooti za gavumenti, zirina kubeera nga ziremye.

Victoria Yunivasite

Victoria Yunivasite

“University kifo kya kuyigiramu naye teri kifo kikulakulana nga tekiriimu bwenkanya, kino Victoria University ky’ekoze leero, kiraga nti ttendekero erigoberera emitendera n’amateeka.” Omulamuzi Kayizzi bwe yagambye ng’asiima ekyakoleddwa.

Kkooti eyalondeddwa egenda kukubirizibwa Elisha Bafirawala. Abalala abagituulako kuliko Rebecca Irene Nassuuna (muwandiisi), Calvin Gizamba akiikirira bayizi, Dr. Bill Nkeeto akiikirira basomesa, Vikrant Jha akiikirira bakozi ba university, Dr. Mimi Harriet Uwineza senate, Dr. Mary Kanyingiya Tizikara akiikirira olukiiko olufuzi olwa University.

Era, university yayanjudde pulani ya myaka ettaano mwegenda okuyita okufuka       yunivasite esiiga okusomesa ebya tekinologiya mu buvanjuba bwa Afrika.

Victoria Yunivasite

Victoria Yunivasite

Enteekateeka yabwe eno yaayanjuddwa ku Lwokutaano nga November/14/2026 nga yakutandiika 2025/26–2029/30. ku mukolo ogw’ekitiibwa ogwabadde ku Speke Resort e Munyonyo.

Yatongozeddwa ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa yunivasite eno era omutandiisi waayo Sudhir Ruparelia  ng’ali wamu n’olukiiko olufuzi olwa yunivasite eno, agikulira Plof: Lawrence Muganga, abasomesa n’abayizi.

  Plof Muganga yagambye nti  Vitoria University  yakukola nnyo okulaba ng’etumbula ebisomesebwa nga batambulira ku mutindo gw’ebyenjigiriza oguli ku mutendera gw’e nsi yonna nga abayizi basoma bakwatako mu kifo ky’okwesiiba ku nkola enkadde yunivasite za wano mwe baabadde basomeseza abayizi baabwe.

Omuwandiisi w’olukiiko olufuzi olwa yunivasite eno mukyala M. G. Katusabe-Ssemwezi yategezezza nti enteekateeka yabwe eno egendereddwamu okulaba nga efula Victoria University nga emu ku matendekero aga waggulu agasinga okubeera ag’omulembe mu nsi yonna nga baniriza obuyiiya n’obukugu mu bisomesebwa.

Plof : Muganga yannyonnyodde nti ensonga lwaki baleese pulaani eno ey’emyaka ettaano. eyazimbiddwa wansi w’e kibuuzo kimu. “Biseera ki eby’omu maaso Victoria University byerina okutondawo” 

Victoria Yunivasite

Victoria Yunivasite

Yagambye nti  ekidibwamu kisinziira ku muntu bwategera tekinologiya n’obukugu okusinziira ku byasomye ebiteekateeka oyo atikiddwa eri omulimu  gw’agenda okukola n’emikisa gy’agenda okusanga.

“Ensi ekyuka ku misinde gyayiriyiiri era ne bisomesebwa birina okukyuka mangu ddala” Plof Muganga bweyategezezza. 

Yayongeddeko nti omulimu gwaffe kuteekateeka abayizi baffe abatikkirwa abayisse kubanga balabye, bakoze buli kimu mu kifo ky’okubikwata obukussu.

Enteekateeka ey’emyaka ettaano eno eraaga nti tekinologiya w’ekika kya “AI” ali wakati mu ntabiiro y’okuduukanya emirimu gya  yunivasite.

Yagambye  nti abayizi baabwe bajja kutendekebwa okukozesa enkola ya tekinologiya ono owa digito mu  ngeri ey’obuvunaanyizibwa n’okuyiiya ate bo abasomesa bagenda kusoosowaza nnyo empiisa, okulowooza ennyo n’okusomesa okulina kyekwongera ku muyizi.

Victoria Yunivasite

Victoria Yunivasite

Yayongeddeko nti yunivasite eno ekkiriza nti omutindo gw’eby’ensoma gulina okutambula ne by’e mirimu era etendekeero lino bategeka okugaziiya engeri ey’ekitiibwa okutondawo emikisa nga bakolagaana bulungi n’abakozesa, abayiiya, ebitongole bya gavumenti, abantu ba ssekinoomu n’e bitongole byo bwannakyewa.

“Tetugenda kukoma kutumbula bisomesebwa kyokka wabula nannyini yunivasite eno Sudhir Ruparelia alina enteekateeka y’okuzimba yunivasite empya engaazi obulungi okusobola okutwala nnamba eweerako     ey’abayizi bannansi n’abava ebweru w’e ggwanga abayaayanira yunivasite eno” Plof : Miuganga bweyategeezza.

      Yagambye nti pulaani eno  egenda kusoosowaza okunoonyereza okunayamba abantu n’okumalawo ebisomooza enkulaakulana y’e ggwanga.

Tags: