Abakulira ebyetambula ebye’nyonnyi mu Uganda aba Uganda civil Aviation Authority basunsudde kampuni ezaagala okutandika okusaabaza abantu mugwanga era nga bano babadde Kampala nga bali mumaaso ga bamu kubakulira emirimu kukisawe kyenyonyi ne kigendelerwa kyokufuna Licence oba e bisanyizo ebibakiriza okukola mu Uganda .
Kampuni zino 3 okuli Flight training centre , Kampala executive Aviation ne Aerojet Aviation Ltd nga bino bibadde ku 4 Points by Sheraton e Kampala , nga olukiiko luno lukulembedwamu sentebe wo lukiiko olukulira emirimu ku kisawe kye nnyonyi e Ntebe olukulembelwa hon.Justice .Dr. Steven Kavuma era nga guno mulundi gwa 52 okusunsula kampuni ezagala okukola ku kisawe kye nnyonyi e Ntebe.

Justice Steven Kavuma Sentebe wa Kakiiko akatwaala ekisawe kye nnyonyi e Ntebe nga ayogerako eli abakozi bokukisawe kye nnyonyi e Ntebe
Sentebe wa Kakiiko kano justice Kavuma agambye nti okususula okugenze bulungi era basubiramu birungi byoka mukutambuza bulungi abantu nga bakozesa entambula ye nyonnyi.
Justice Steven Kavuma gambye nti omuwendo gw’abantu abetanidde okukozesa etambula ye nnyonyi mugwanga yeyongedde nga muwenzi gwa September 2025 abantu 226,301 bebakozesa ekisawe kye ennyonyi , nga kino kilanga abantu 7,543 bebatambula mulunaku .
Uganda elina ebitongole bye ennyonyi 19 ebikozesa ekisaawe kyenyonnyi Entebbe okugenda nokuletta abasabazze era nga nakati ekitongole kye nyonnyi egwanga eya Uganda Airlines kati esabaza abantu okuva mu mawanga 23 ngenjawulo okuli Ghana, Somalia, Londan, Algeria,Brazil,Iceland , United states of America namawanga amalala mangi .