Rt. Major Gen.Mugisha Muntu agumizza abawangaalira mu bizinga eby'enjawulo nti bw’afuuka Pulezidenti waakwongeza ku muwendo gw'ebidyeri ku bizinga n'abasaba okumuyiira akalulu abataase ku buzibu bwe balina mu byentambula.
Gen. Mugisha Muntu bw'abadde asaggula akalulu mu bizinga by'e Kalangala abalunnyanja bamulaajanidde ku kizibu ky'entambula nga bagamba nti ebidyeri tebitambula kiro nti era oluusi abantu balwala ne bafa olw'okubulwa entambula ebasomosa amazzi okudda ku lukalu awali amalwaliro amalungi.
Kyokka Gen. Muntu mu kwogerako eri ab'e Kalangala agumizza bonna abawangaalira mu bizinga eby'enjawulo nti bw'alondebwa ku bwapulezidenti ebizinga byonna ebinene byakussibwako ebidyeri bibiri nti era n'ebizinga ebitalina bifo wagoba bidyeri byakuzimbibwa kyanguyiza abantu entambula ko n'okwenyigira mu by'obusuubuzi.
Ku nsonga y'ebidyeri by'e Kalangala, obutatambula kiro, Gen.Muntu yasuubizza nti bw'atuula mu ntebe y'obwapulezidenti ajja kutuula n'abakugu okusala amagezi balabenga ebidyeri ku bizinga eby'enjawulo bitandika okutambula ekiro nga bwe guli ku mmotoka, ennyonyi, bodaboda n'entambula endala n'asaba Bannayuganda okumulonda atereeze ebisobye mu ggwanga.