Abatereka ensimbi ku kittavvu kya gavumenti ekya National Social Security Fund (NSSF) babuukira waggulu oluvannyuma lwa minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija okulangirira amagoba ga bitundu 13.5 ku bili 100 ku nsimbi ze batereka.
Amagoba gano geeyongedde okusinziira ku g’omwaka gwa 2023-2024 agaali ku bitundu 11.5 ku buli 100.
Minisita Kasaija y’alangiridde amagoba gano agagenda okuweebwa abakozi ba gavumenti, ebitongole ebitali bimu wamu neba ssekinnoomu ebeeterekera mu NSSF.
Minisita Kasaija asiimye enzirukakya ya NSSF wabula n’abasaba okweyongera okuyitimuka mu mwaka 2025-26.
Babadde ku woteeri ya Serena mu Kampala minisita gye y’alangiriridde bino.
“Gano ge magoba agakyasinze obusava okugabirwa bammemba abatereka mu kitongole kino. Nsiima abaddukanya ekitongole kino era gavumenti egenda kutandika okukozesa ku ssente zino okukola emirumu egitali gimu mu kifo ky’okwewola mu bitongole by’amawanga ag’ebweru,” bwe yategeezezza.
Ye minisita w’ekikula ky’abantu, emirimu n’enkulakulana Betty Amongi naye yasiimye NSSF n’addala okukkiriza okutandika okutereka ensimbi z’abantu ba neekorera gyange aba bulijjo omuli ab’obutale ne bboda booda okutandika okutereka mu kitongole kino.
“Nabasaba abantu ba bulijjo batandike ne sh5,000/= buli wiiki. Wabula twagala zikke ku sh1,000 buli wiiki okusobozesa abantu bangi aba bulijjo okutereka,” minisita Amongi bwe yategeezezza.
Ono agambye nti bajja kugenda mu maaso n’okufuuza era n’okuwaliriza ebitongole ebirina abakozi ne bw’ebeera omu bitandike okubaterekera ssente mu NSSF.
Ye maneja w’ekitongole, Patrick Ayota yategeezezza nti bakoze bulungi bw’ogerageranya ku mawanga g’obuvanjuba bwa Afrika amalala.
“Tulina ssente ezimala okusasula buli mmemba ekitongole ne bwekiggalawo kati. Tugumya abantu bonna nti teri ajja kufiirwa ssente ze kubanga kino kisiba bangi okutereka. Tuli beetegefu okuwola gavumenti sente okukola oluguudo lwa Kampala – Jinja Highway,” bye bimu ku bye yategeezezza.
Ye ssentebe wa NSSF Board, David Ogong yategeezezza nti baalina obusobozi obuwona gavumenti okutumbula ebintu ebitali bimu omuli ebizimbe, okukola enguudo nga Bombo – Kampala ne Kyengera – Kampala