Abayizi abasoba mu 1600 be bagenda okwenyigira mu mpaka z’ameefuga ezitegekeddwa essomero lya Taibah International School e Bwebajja.
Empaka zino eziyitibwa Taibah Independence Sports Tournament zitandika ku nkomerero ya wiiki eno nga zamulundi gwakutaano okutegekebwa essomero lino.
Ez’omwaka guno zaakwetabwamu amasomero 10 nga bavuganya mu mupiira ogw’ebigere abawala n’abalenzi, Volleyball, basketball n’okubaka nga zaakuwannyibwa mu wiikendi ssatu.

Abamu ku baana abagenda okwetaba mu mpaka
Bataddemu omupiira gw’abawala ogw’ebigere omulundi ogusoose era ng’empaka bazitaddemu ensimbi 30,000,000/= (obukadde asatu).
Akulira essomero lino, Oskar Semweya ateteezezza bannamawulire nti wadde ng’agamu ku masomero gatandise okukola ebibuuzo, bbo bataddewo emizannyo ku wikendi okusobozesa abaana obuteeziika nnyo mu bitabo.
“Tusomesa abaana mu bintu bingi okuli emizannyo, katemba, okuteesa mu nkola ya dibeeti, okuwuga, okuzannya chess n’ebirala bingi okufuna omuyizi atuukiridde. Abayizi abamu abatasobola bulungi bya kibiina osanga ate mu mizannyo nga bayitimuka,” bwe yategeezezza.
“Abaana baffe balaba nnyo emizannyo gya TV era ne bafuna ekinyegenyega nabo okuzannya era nga tulinawo abayitimuse,” bwe yayongeddeko.
Agambye nti ttiimu zaasunsuddwa mu mpaka z’ebibiina ezimanyiddwa nga ‘Inter-Class’ era nga beetegefu okweddiza obuwanguzi bwe baatuukako omwaka oguwedde.
Taibah baagala kweddiza okuli omupiira gw’abalenzi abali wansi w’emyaka 15 ne 20 wamu ne basketball mu bawala.

Abateesiteesi
Okubaka ne basketball w’abalenzi mu myaka 15 ne 20 byawangulwa aba Bethel Covenant College so nga Volleyball yawangulwa aba Vikas International School.
Ye omukulu w’abasomesa, Annet Nannyonjo ategeezezza nti aba Taibah baayawukana mu ntegeka z’amasomero aga bulijjo eza Zone ezitegekebwa ekibiina kya Uganda Secondary Schools Sports Association (USSSA) nga bagamba nti zaalingamu kyekubiira mungi.
“Twatandika n’amasomero ana. Wabula tulina essanyu nti gagenze geeyongera ate ne kiyamba n’essomero okukolagana n’amalala. Abantu bangi baali balowooza nti essomero lino lisomesa bazungu wabula emizannyo gyayamba okubalaga ekifuufu,” bwe yategeezezza.
Mu kukkaatiriza omugaso gw’emizannyo, Nannyonjo agambye nti balina emiramwa kwe batambulira mu ssomero lino okuli okuyiiya, okulowooza n’amaanyi, okukolagana bokka ne bokka ate n’okulowooza ku muntu wa bulijjo ebweru w’essomero.
Amasomero amapya ku mulundi guno ye Aga Khan High School, Agrolink Academy Namasuba ne Pearl of Africa e Ntebe.
Abawanguzi baakusitukira mu bikopo ebitali bimu n’emidaali.
Ye pulezidenti w’abayizi ba Taibah International Cambridge, Sean Kiwumulo ategeezezza nti ekizannyo giteekawo enkolagana n’amasomero agaliraanye era nti tebeerayo bakola ffujjo.