OMWAKA guno Uganda si yaakuguza mawanga malala sukaali waayo olw’ebikajjo okubula ku katale kwossa n’okuvuvanyizibwa okwamanyi mu mawanga agaliriranye okuli Kenya ne Tanzania ekigenda okugiviirako okufiirwa obukadde bwa doola 150.
Bino bitegeezeddwa ssentebe w’ekibiina ekigatta kampuni ezikola sukaali ekya Uganda Sugar Manufacturers Association – Jim Kabeho bw'abadde alabiseeko mu kakiiko ka Palamenti akalondoola eby’obusuubuzi akali mu kwekenneenya ebbago eritunuulidde okulung'anya abeenyigira mu mulimu gw’okukola sukaali okuviira ddala ku mulimi.
Emu ku nsonga eziteekeddwaako essira mu bbago lino erya Sugar Amendment Bill 2023 kwe kulaba nga wabaawo akakiiko akafuzi akatunula mu nsonga z’okugaba layisinsi kubanga mu kadde kano obuyinza buli eri Minisita.
Kabeho agambye ababaka nti ku muliraano e Kenya abaayo bagula taani y’ebikajjo ku Ug.shs.155,000/=, mu Tanzania bagula Ug.shs.100,000/= buli taani wabula nga wano taani eri wakati wa Ug.shs.235,000/= ne Ug.shs. 247,000/= ekiraga nti ebbeeyi wano ekyukakyuka olw’ebizibu ebitali bimu.
Agambye nti eky'ennaku abaguzi olumu bakwata kontulakiti okuguza kampuni ebikajjo naye ne beekyusa mu maaso, abamu batunda ebikajjo ebito ekiviirako sukaali obutabeera wa mutindo ate nga n'ebyetaago bingi ebikozesebwa abamu bye batalina, n'agamba nti n’akatale akatono ke basigazza mu Sudan ne Zaire nako bayinza okukafiirwa.
Mu mwaka gwa 2021, Uganda yaali etunda taani za sukaali 150,000, bwe bukadde bwa doola 150 obwali buyingira mu ggwanga wabula omwaka oguwedde tewali nsimbi ziyingidde nga kino kiyinza okugenda maaso n’omwaka guno olw’okubanga nga tewali kuteekateeka kumala kulung'amya mulimu guno.