PULEZIDENTI Museveni agabidde ebibiina by'abavubuka abamunoonyeza akalulu bina, pikipiki 50 zibayambeko okuzikozesa bayongere ku byenfuna byabwe.
Piki-piki zino bazigabidde ebibiina okuli NRM Youth Command abafunye piki-piki 12 , RRU bafunye 15 , Munnabugerere 15 ne Tonta bafunye 8
Zabakwasiddwa Aminah Mukalazi omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga ezikwata ku kutumbula ebikoleddwa mu ggwanga ku mukolo ogwabadde offisi za Kkampuni ya Haojue eyazibaguziza .
Owa High Command ne banne nga bali mu kugaba Piki-piki
Muky. Mukalazi yagambye nti bodaboda zino zikwasiddwa abakulembeze be bibiina byabwe wabula ssi za kinoomu nga bakuzikozesa wamu mu kibinja basobole okwekulaakulaanya
Yayongeddeko nti musanyufu kubanga Kkampuni eno ekozesa bavubuka bannayuganda okujjako nga ye offisi ye bebavunanyizibwaako okujjako
Yayongeddeko nti bakubongera endala wabula bagala okulaba nga byonna ebikwata ku bodaboda zino bitandika okukolebwa wano mu ggwanga abavubuka bangi basobole okufuna emmirimu naddala abafuluma mu mu matendekero agawaggulu .
Piki-Piki ezaagabiddwa
Aakulira Kkampuni ya Haojue , Matumain Matumani yagambye nti piki zetafne zamulembe nga babawereddeko galanti yamwaka nti bwe beerako ekifdde bakyama ku galagi yabwee ne bakikolako nga tasasudde .Babawereddeko oil okukola savisi , kaadi ya mafuta liita ttaano ne birala
Abakulira ebibiina bino okwabadde Juma Tinyefunza ( Youth High Commnand) bagambye nti babadde bakola kinene okwetaba mu kunoonyeza pulezidenti ate nga ye patulooni we kibiina kyabwe kyokkka nga tebajjukirwa
Yeebazizza Muky. Mukalazi okubajjukira n’abakwattako nabatuusa mu maaso ga pulezidenti mirungi egyenjawulo nga kyebavudde basobola okufuna obuyambi bwa pikipiki zino
Abantu nga bafuna piki-Piki
Akulira Kkampuni ya Haojue , Matumain Matumani ate abasooka ku (kkono ) abakulira abavubuka bano
(wakati) Hajat Amiinah Mukalazi nga atongoza boda ezakwasiddwa abavubuka ku (Kkono ) akulira Kkampuni ya Haojue , Matumain Matumani ate abasooka ku (kkono ) abakulira abavubuka bano