Uganda etandise bubi mu mizannyo gy'amasomero mu Algeria

Tiimu za Uganda zitandise bubi mu mpaka z'amassomero ga Africa eziyindira mu bibuga ebyenjawulo mu Algeria

Omuzannyi wa Uganda ng'attunka mu Tenis w'okumeeza
By Julius Kafuluma
Journalists @New Vision

Tiimu za Uganda zitandise bubi mu mpaka z'amassomero ga Africa eziyindira mu bibuga ebyenjawulo mu Algeria.

Mu muzannyo gw’ensero owa 3x3 mu balenzi Uganda yavuddemu oluvannyuma lw'okukubwa emizannyo gyayo gyombi.
 
Uganda yakubiddwa Ghana 13-7 mu muzannyo ogwasoseewo ate Rwanda ne gikuba 15-9 mu gwazzeeko.
 
Mu bawala Benin yakubye uganda 21-13 nga kati uganda esabirira kuwangula mizannyo gyayo gyesigazza okuyitamu.
 Abamu ku bazannyi ba Uganda nga bali mu kugolola amagulu

Abamu ku bazannyi ba Uganda nga bali mu kugolola amagulu

 
Embeera yeemu yeyabadde mu muzannyo gwa Beach volley ball nga eno abategesi aba Algeria baakubye Uganda obugoba 2-0.
 
Wabula omuzanyi wa Tena w'okummeeza Imran Luwooza yeesozze oluzannya lwa quarter final oluvannyuma lwokuwangula emizannyo gye gyombi mu kibinja ekyokubiri. Luwooza yasookedde ku Abdelhine Merouane munnansi wa Algeria gweyawangulidde ku bugoba 3-0 
 
(11-9, 11-7 ne 11-8) n'oluvannyuma n'akuba munnansi wa seychelles Abel Athan Lester ku bugoba 3-0 (11-8,11-9 ne 11-3).
Empaka zino zetabiddwamu abavubuka abasoba mu 3000 okuva mu mawanga 50 ku lukalu lwa Africa