UACE: Omuyizi omu owa S.6 ku mpapula yawandiikako mannya g'abayimbi ab'amaanyi - Odongo

Daniel Nokrach Odongo akulira ekitongole kya UNEB asoma ebivudde mu bigezo bya S. 6 olwaleero  ku Ofiisi ya Katikkiro wa Uganda mu Kampala asesezza abantu  bw’ayogedde ku bayizi ababiri abamaze emyaka ebiri naye nga tebalina byakuddamu.

Daniel Nokrach Odongo ng'ayogera.jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Omuyizi #nnyimba #z'abayimbi #bigezo S.6

Bya Daphine Semakula

Daniel Nokrach Odongo akulira ekitongole kya UNEB asoma ebivudde mu bigezo bya S. 6 olwaleero  ku Ofiisi ya Katikkiro wa Uganda mu Kampala asesezza abantu  bw’ayogedde ku bayizi ababiri abamaze emyaka ebiri naye nga tebalina byakuddamu.

Agambye nti omu ku bayizi essaawa ebbiri ze baabawa yazimala akoppa bibuuzo ebimubuuziddwa.

Odong ayogedde nti omuyizi omulala ye yawandiika olukalala lw'abayimbi be ab'amaanyi bamanyi omuli ; Celine Dione, Mariah Carey  n’abalala. . Ono yatawandiika bwati:

''Owoomukwano ekizamina 'Examiner' okyamalira ebiseera ku nze nga waliwo abali  siriyaasi? "

Ono yawandiika ekitontome ekigamba nti ''nze jjinja omuzimbi lye yagaana'' (iam the stone the examiner refused.

Bano be bamu ku bayizi abaatafuna kabonero konna mu bigezo by'omwaka oguwedde.