OMUSOMESA wa Kabojja eyatigaatiga omuyizi omulenze akaligiddwa emyaka 7 mu nkomyo oluvannyuma lw'okukkiriza emisango egy'amuggulwako.
Muwumuza 43 abadde yaggulwako emisango mu May 9,2025 okuli ogw'okugezaako okukabasanya omwana omulenzi ataneetuuka wamu n'ogwokumutigaatiga omulamuzi wa kkooti ku Buganda Ronald Kayizzi omukalize emyaka 7 oluvannyuma lw'okukkiriza emisango.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu omuwaabi wa gavumenti Joan Keko wamu ne Ivan Kyazze lwategeezezza kkooti oludda oluwawabirwa lwa batuukirira nga lwagala kugenda mu nzikiriziganya nabo era nebakaanya ne kukiboberezo ekyokusibwa emyaka ena n'ekitundu ku musango ogusooka ate omusango ogw'okubiri emyaka esatu(3)
Keko yategeezezza kkooti nti emisango egivunaanibwa Muwumuza yagiddiza mu kibeera kyekimu era nga kino yakikola ku mwana ow'emyaka 11 ate nga yeyandibadde amuwabula obutakola nsobi nga kwotadde nokumwesiga nga omusomesa we.
Yagaseeko eky'okuba nti emisango ekiseera Muwumuza mweyagiddiza baali ku lugendo lw'okulambula bweyatandika okutigaatiga omwana ono era kino kyasiiga ebifananyi ekibi mu baana abalala abakiraba wamu nokuleeta entiisa ku mwana gwebaakituusaako n'asaba kkooti emuwe ekibonerezo ekimugwana.
Emisango egimusingisiddwa giri ebiri okuli ogwokugezaako okukabasanya omwana wemyaka 11 wamu nokumutigsatiga ekikolwa ekikontana n'amateeka era nga bino byonna byatuukawo nga May 4, 2025 mu bitundu bye Kampala ne Mbarara.
Empaaba ya kkooti eraga nti Muwumuza yatandika okutigaatiga omwana ono nga bali ku lugendo lwokulambula bweyakwata omukono gw'omulamuzi natandika okukwata omukono ggwe nga agukakaatika ku busajja bwe.
Omulenzi yalaba kimususeeko yasituka nakyusa ekifo bweyali atudde kyokka Muwumuza namulumbayo, kyeyekola kwekufuna essimu kweyafunira maama we namubuulira ekyali kimutuuseeko.
Muwumuza nga musomesa omutendeke ku ssomero lya Kabojja Junior School omutuuze we Gayaza Kasangati mu disitulikiti ye Wakiso ya maze nakkiriza emisango n'ategeeza kkooti nti byonna ebiri mu mpaaba ya kkooti bituufu wabula n'asaba okuwebwa ekibonerezo ekisaamusaamu kuba yabeezaawo famile ye era nga gwemulundi gwe ogusoose okuzza omusango.
Omulamuzi Kayizzi yamusingisizza emisango era namusalira ekibonerezo kyakusibwa mu kkomera emyaka 4 nemyezi 6 ku musango ogusooka ate omusango ogw'okubiri n'amusaba emyaka 3 wabula nga ekibonerezo byombi bigenda kutambula ekiseera kyekimu era nga Muwumuza wa kokola ekibonerezo ekisingako emyaka emingi eky'emyaka 4.