Bya Samuel Tebuseeke
Judith Heard eyaliko nnalulungi wa Africa era omwolesi w'emisono awadde Bannayuganda amagezi okweyambisa enkuba eno etandise okutonya okulaba nga basimba emiti egy'enjawulo okusingira ddala egy'ebibala wamu n'eddagala
Agamba nti kino kijja kuyambako Bannayuganda okukendeeza ku ssente ze batwala mu malwaliro ng' ate basobola okwejjanjaba eddwade ezimu nga bakozesa emiti n'ebikoola kwossa okukuuma obutonde bw'ensi.
Bino yabyogeredde ku ssomero lya Kasangati High School gye yatongoleza kaweefube w’okusimba emiti. Yabadde n'abawala ga Kasanati High School kw'ossa Ssimbwa Khalid nnannyini ssomero lya Kasangati High School, abagabidde abatuuze b'ekyalo Kabannyolo emiti.
Bategeezeza nti bali mu kampeyini gye batuumye Mission Green era nga bagenda kusimba emiti obukadde 50 mu Africa yonan nga batandikidde Kasangati-Uganda wamu n'okugenda nga basomesa emigaso gy'okusimba emiti wamu n'akabi akali mu kutema emiti, asabye abantu abatema emiti okulaba ng'ate basimbayo emiti emirala, abaana babwe n'abazzukulu nabo gye balitema nga gikuze.