Gavt. eyongezzaayo okulonda kwa LC omulundi ogwokutaano

GAVUMENTI eyongezzaayo ekisanja ky’abakulembeze ba LC 1 ne LC 2 omulundi ogwokutaano bukya balondebwa mu 2018.

Magyezi
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

GAVUMENTI eyongezzaayo ekisanja ky’abakulembeze ba LC 1 ne LC 2 omulundi ogwokutaano bukya balondebwa mu 2018.
Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa minisita wa Gavumenti z’ebitundu, Raphael Magyezi kyategeezezza nti ekisanja ky’abakulembeze ba LC ekibadde kiggwaako nga June 28, 2025 kyongezeddwaayo  ennaku endala 180 (gye myezi mukaaga) okutandika nga June 29, 2025. Kino kitegeeza abakulembeze ba LC bagenda kusigala nga baddukanya ofiisi
zaabwe okutuuka nga December 29, 2025.
Abakulembeze ba LC 1 ne LC 2 baalondebwa mu 2018 ku byalo 70,626 n’emiruka 10,959 ng’ekisanja kyabwe kyali kiggwaako July 10, 2023. Kyokka okuva olwo
okulonda kuzze kwongezebwayo,era guno mulundi
gwakutaano nga bongezaayo. Magyezi agamba etteeka lya Gavumenti z’ebitundu limuwa obuyinza okwongerayo okulonda kwa LC ennaku  ezitasukka 180. Era azze
akozesa obuyinza buno.
Okulonda kw’obukiiko bw’abakyala okwali okw’okubeerawo mu August wa 2022 nakwo  kwayimirizibwa olw’ebbula lya ssente. Akakiiko k’ebyokulonda kazze kasaba ssente eziri wakati w’obuwumbi 50 ne 60 okutegeka okulonda kuno  okwokusimba mu mugongo, kyokka Gavumenti ng’egamba tezirina