MINISITA w’ebyobuwangwa n’embiri e Mmengo, Anthony Wamala anenyezza abatakuuma byafaayo nga buli kimu bakisaanyaawo. Ono yabadde ku mukolo ku yunivasite e Kyambogo, nga baddamu okusimba omuti gw’omuwafu, Ssekabaka Muteesa 1 mwe yasinziira okuwandiika ebbaluwa eri Nnaabakyala w’e Bungereza ng’ayita abaminsane n’abasomesa okusomesa abantu mu Buganda ne mu Uganda.
Omuti ogwali munda mu yunivasite e Kyambogo, gwagwa omwaka oguwedde era Obwakabaka nga bali ne yunivasite, baasalawo okuddamu okusimba omuti guno ogw’ebyafaayo okumpi n’ekifo wennyini we gwali.
Omulimu guno gwakwasibwaakakiiko akakulemberwa addirira omumyuka wa cansala wa yunivasite y’e Kyambogo, Polof. Maria Gorreti Nassali Musoke nga baafunye endokwa y’omuti gw’omuwafu evudde mu muti gwennyini ogwagwa gye bazzeemu okusimba.
Wamala yeebazizza Polof. Nassali n’olukiiko lwe abazzizzaawo omuti guno nga beeyambisa emmerezo evudde mu muti ogwagwa era n’abakuutira okugukuuma,
Polof. Nassali eyakulembeddemu okuzzaawo omuti guno yagambye kyabatwalira emyezi 6 okufuna emmerezo okuva mu muti guno era baasazeewo okusimba endokwa ne mu bifo eby’enjawulo nga mu Lubiri lw’e Banda, ku yunivasite ya Muteesa 1 e Kirumba, ku ssomero lya Kings College Buddo, Botanical Gardens n’amasomero amalala era yeebazizza obwakabaka ne Yunivaasite okubawa obuvunaanyizibwa buno bwe bagenda okukola