Ssentebe Mukiibi abadde ku kitebe kya disitulikiti eno e Kaasabale era asisinkanye abakiise bano okuva mu ggombolola ezikola Kalungu n'agamba nti bwe babeera nga baakumalawo ebizibu ebiruma abalonzi baabwe, balina kukwatira wamu kubanga n'ekiseera kye baabaazika okubakulembera nakyo kigenderedde.
Ssentebe Mukiibi agambye nti ebimu ku bizibu ebikyaluma abatuuze kuliko emyalo ogw'e Bulingo,Kalangala ne Kamuwunga ku nnyanja Nalubaale egyaggalwa.
Ssentebe Mukiibi ng'ayogera.
Yagambye nti kino tekyakosa byanfuna by'abavubi byokka wabula ne disitulikiti yafiirwa omusolo ogwavangayo omungi ne guyamba ku nkulaakulana.
Ebirala byasonzeeko kuliko omuwendo gw'abasomesa ogukyali omutono naddala mu masomero ga Siniya, abazadde abalagajjavu mu kuwa abayizi ebyetaago omuli n'ekyemisana, ebbula lya kabuyonjo z'abayizi n'ebirala ebizing’amizza eby'enjigiriza.
Ebirala byayogeddeko ebikyali obubi kuliko embeera y'amalwaliro okuviira ddala ku bizimbe n'empeereza y'abamu ku basawo abatatuukiriza bulungi mulimo gwabwe, obutonde bw'ensi obutyoboddwa, enguudo ezikyali embi nti kyokka nga n'abakozi ba Gavumenti abavunaanyizibwa okulondoola embeera eno bakole lippoti tebalina ntambula n'ebikozesebwa ebirala ng'ebyuma bikalimagezi (Kkompyuta).
Ayongeddeko nti abalimi bangi basigalidde emabega wa Pulojekiti za Gavumenti nga Agricultural Cluster Development Project, UGIFT Micro-Scale Irrigation Programme n'endala ezaali zigendererwamu okusitula enfuna yaabwe nti kyokka abamu ne balemesebwa okuzeenyigiramu olw'obutamanyisibwa kimala ng'olumu kiva ku bakulembeze n'abakozi ba Gavumenti abatakoze kimala olw'okusoomoozebwa okw’enjawulo.
Omwaka gw'ebyensimbi guno 2021-2022 Kalungu yayisa embalirira ya buwumbi bw'ensimbi za Uganda 29,676,452,000 okweyambisibwa mu nkulaakulana, kyokka Ssentebe Mukiibi agamba nti bandiremererwa okutuukiriza ebigendererwa byabwe ebisinga, bwe batakwatira wamu ng'abakulembeze.